Tewakyali Kiyinza Kulemesa Mbaga ya Kyabazinga-Dr. Muvawala

1 minute, 25 seconds Read

“Tuli basanyufu nnyo olwa Bannaffe okuva mu Bwakabaka bwa Buganda wamu n’abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebirala abatuwagidde mu bungi. Embaga ya Mwenemu yaakubeera ya kitiibwa nnyo era ya byafaayo,” Katuukiro Dr. Muvawala bwe yategeezezza.    

Bya Tony Evans Ngabo

Katuukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala agumizza Abasoga ng’enteekateeka zonna bwe ziwedde ez’embaga y’omwaka eya Kyabazinga Isebantu Wilberforce Gabula Nadiope IV ne Inhebantu Jovia Mutesi.

Embaga eno yaakubeerawo ku Lwomukaaga luno nga November 18, mu Christ’s Cathedral mu kibuga ky’e Jinja. Katuukiro agambye nti tekyali kiyinza kuziyiza mbaga eno, ka gwake k’etonnye.

Okwogera bino, Dr. Muvawala abadde ku kitebe kya munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso gye bamutikidde ebirabo bya Kyabazinga ne Maama Jovia Mutesi nga Busoga yeeteekerateekera embaga. Mu bino mubaddemu ente, embuzi, wamu n’enkota z’amatooke. Katuukiro agambye nti basuubira ebikumi n’ebikumi by’abantu okuli abava mu Busoga, ebweru wa Busoga, abava ebweru w’eggwanga omuli n’abakukembeze b’ennono abagwa mu biti eby’enjawulo.

Meeya Mutebi ng’alaga Katuukiro Dr Muvawala ente kkanso ya munisipaali y’e Kira gye yawaddeyo ku lw’embaga ya Kyabazinga.

Ono asiimye abantu abava ebweru wa Busoga nga wano anokoddeyo Abaganda b’agambye bassa ekitiinwa mu Busoga nga kino bakiraze nga bayita mu kuwagira embaga ya Mwenemu.

“Tuli basanyufu nnyo olwa Bannaffe okuva mu Bwakabaka bwa Buganda wamu n’abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebirala abatuwagidde mu bungi. Embaga ya Mwenemu yaakubeera ya kitiibwa nnyo era ya byafaayo,” bw’ategeezezza.

Meeya wa munisipaali y’e Kira Julius Mutebi Nsubuga asiimye enkolagana ey’amaanyi wakati w’abantu Abasoga n’Abaganda ky’agamba nti ebayambye nnyo ng’abakulembeze okutambuza obulungi emirimu.

“Olw’ekolagana eyo, ekituuka mu Buganda Abasoga badduukirira ate bwekityo n’ekituuka ku Basoga naffe tusitukiramu. Ye twandyesisiggirizza tutya nga Kamalabyonna, nnyinimbuga Katikkiro Charles Peter Mayiga yasitukiramu dda,” meeya Mutebi bw’annyonnyodde.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!