Eklezia mu Lutikko e Lubaga ewuumye nga Charles Bbaale Mayiga Junior, mutabani wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yeewangulira obufumbo obutukuvu.
Charles Bbaale Mayiga Junior agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne mwana munne, Sonia Elizabeth Nabagereka, ng’omusumba wa Klezia ow’essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba y’akuliddemu omukolo guno.
Omukolo guno gusitudde ebikonge okuli Maama wa Buganda, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Ssaabalamuzi Alphonse Owiny-Dollo, Sipiika wa palamenti, Nnaalongo Anita Annet Among, Omulangira David Kintu Wassajja, ba Minisita ba Ssaabasajja Kabaka ab’enjawulo n’abagenyi abalala bangi.
Ng’ayita ku mukutu gwe gu mugatta bantu ogwa X omumanyiddwa nga Twitter, Katikkiro ataddeyo obubaka wakati mu ssanyu ng’ayagaliza abaana obufumbo obulungi ate obw’essanyu.
Obubaka bwa Mukuumaddamula bugenda bwe buti;
“Abaana baffe Charles Bbaale Mayiga Junior ne Sonia Elizabeth Nnaabagereka bagattibwa mu bufumbo obutukuvu mu Lutikko e Lubaga olwa leero.
Bishop Serverus Jjumba yaakulembeddemu mmisa y’okubagatta. Twebaza Katonda atutuusizza ku lunaku luno, era tumusaba obufumbo buno Abuwe omukisa.”