Gen. Edward Katumba Wamala ne gye buli eno bw’ajjukira engeri gye yasimattuka amasasi ne kiba nga we butuukidde olwaleero ng’enkuyege zikyamukubira enduulu, agamba nti talema kufukamira n’asabako n’okwebaza Katonda kuba tebwali busobozi bwe ng’omuntu wabula ekisa ky’oyo eyamutonda.
“Bannange mmwe okuba nga mundabako olwaleero ne njogera gye muli, tebwali busobozi bwange kuba mbu ndi munnamagye eyazirwanako, wabula Katonda. Abasiraamu bagamba nti nnabuuka mu ssanda!,” Gen. Katumba bw’ayogedde mu kuggulawo ekkanisa ya St. Mark Kikandwa ng’eno yagyeyimbamu ng’omuntu n’agizimba mu bbanga lya mwaka gumu olw’okwebaza Katonda okumubibbako obusubi n’asimattuka obulumbaganyi.
Mu bulumbaganyi buno abazigu ab’emmundu baamweteegerera ne bamukuba amasasi emmotoka ye okukkakkana nga muwalawe Brenda Nantongo ne ddereeva we bafudde ye n’abuukawo n’ebisago.
Katumba ategeezezza nti oluvannyuma lw’okussuuka, yayogeramu ne mukyalawe, ne bakkaanya azimbe ekkanisa y’e Kikandwa ekisangibwa mu Kasawo ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Mukono gy’azaalwa nga kye kyokka kye yalowooza kye yali ayinza okukolera Katonda.
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stephen Kazimba Mugalu y’akulembeddemu emikolo egy’okuggulawo ekkanisa eno ng’ayambibwako omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ssaako owa Central Buganda eyawummula, Jackson Matovu n’omuwandiisi w’obulabirizi bw’e Mukono, Canon John Ssebudde.
Kkanisa eno Ssaabalabirizi Kazimba yagitemera evvuunike nga June 4, 2022, oluvannyuma lwa mikwano gya Gen. Katumba gyasitukiramu okusonda ensimbi z’okuzigimba ku lunaku lwe lumu.
Ng’abuulira, Ssaabalabirizi asiimye Gen. Katumba olw’okuzimba kkanisa ey’omulembe bweti ku kyalo kw’azaalibwa n’agamba nti ono kino kye yakola olw’okusiima Katonda eyamusimattusa okufa. Ono era asiimye Katonda olw’okulekawo Gen. Katumba agende mu maaso n’okumuweereza. “Abantu abamu Katonda abaleseewo olw’ekigendererwa naye temukozesezza mukisa ogwo, kye kiseera mwekube mu kifuba, bw’oba obadde tolokokanga, gira olokoke kuba tomanya, eyo eyinza okuba nga y’ensonga ekulesezzaawo, n’olw’ekyo tolwawo kuba tomanyi ddi lw’anaakuddukira,” bw’ategeezezza.
Asabidde bazadde ba Gen. Katumba omukisa okuli nnyina Dorothy Wamala ne taata Henry Wamala olw’okuzaala omwana atuuse omukisa eri Uganda n’agamba nti bano wadde baafa, bakyali balamu olw’omwana waabwe ono.
“Kyannaku nti eriyo abazadde abazaala abaana nga bakyali na balamu naye ng’onyinza okulowooza nti baafa, kyokka ate abamu nga baafa naye ng’ate balamu nga bwe guli ku ba Wamala,” bw’agambye.
Ssaabalabirizi era yennyamidde n’agamba nti wadde amakanisa nga gano mangi gazimbiddwa eky’ennaku abagasabiramu bbo batono nnyo, naye ng’ate Abakulisitaayo bangi. Asabidde n’omugenzi Nantongo eyafa amasasi ne ddereeva wa Gen. Katumba abazigu bwe baabalumba ne babakuba amasasi olwo ye Gen. Katumba Katonda n’amubikkako obusubi n’asobola okusimattuka.
Gen. Katumba omukolo guno agwetabyeko n’aba ffamire ye bonna okuli bannyina, Margaret Kanyali, Catherine Nantongo Wamala n’abalala, mikwano gye omuli abali mu magye, abakulembeze omuli ababaka ba palamenti n’abakulembeze b’eddiini ab’enzikiriza ez’enjawulo.
Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo, omulabirizi eyawummula owa Central Buganda, Jackson Matovu, omulabirizi w’e Namirembe omulonde ne maama, Canon Moses Bbanja n’abalala bangi. Eyaliko omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya.
Ye Bp. Kagodo asabye Abakulisitaayo abasangibwa mu kitunddu kino n’ababadde batasaba okutandika okusaba mu bungi balabe nga bagijjuza.
“Bannange ate mukimanye nti yammwe si ya Gen. Katumba agizimbye, temugeza okwesuulirayo ogwa nnaggamba, mugirabirire, bw’ebeerako eweetaaga okuddaabiriza, temulina kulinda Gen. Katumba, ye ogugwe guwedde era agikwasizza Ssaabalabirizi naye n’agibakwasa mu butongole,” Bp. Kagodo bw’agambye.
Ye Ssaabalabirizi agambye nti emirundi mingi, ekkanisa ng’eno zizimbibwa abantu ne batazisabiramu olwo obuwundo ne buzeddiza.
Mu kusaba kuno, omulabirizi w’e Mukono, Bp. Kagodo ataddeko abaana abasobye mu 80 emikono nga bano beetwalidde omukisa ng’abasookedde ddala okuteekebwako emikono mu kkanisa eno.