Gen. Edward Katumba Wamala ne gye buli eno bw’ajjukira engeri gye yasimattuka amasasi ne kiba nga we butuukidde olwaleero ng’enkuyege zikyamukubira enduulu, agamba nti talema kufukamira n’asabako n’okwebaza Katonda kuba tebwali busobozi bwe ng’omuntu wabula ekisa ky’oyo eyamutonda. “Bannange mmwe okuba nga mundabako olwaleero ne njogera gye muli, tebwali busobozi bwange kuba mbu ndi munnamagye […]