Katikkiro wa Uganda, Charles Peter Mayiga alambudde ebifo eby’enjawulo ewali okunoonyereza n’okugatta omutindo ku birimibwa n’okulunda mu ggwanga wansi w’ekitongole kya National Agricultural Research Organisation (NARO) nga kino kyatta omukago n’Obwakaka bwa Buganda okulaba ng’ebyo ebikolebwa mu bifo bino eby’enjawulo bisaasaanyisibwa mu bantu ba Kabaka okusingira ddala abavubuka mu masaza ag’enjawulo.
Mu bifo Katikkiro by’alambudde mwe muli gye bagattira omutindo ku mmwanyi ne Cocoa ekya National Coffee Research Institute (NACORI) ekisangibwa e Kituuza mu Ntenjeru-Kisoga TC mu disitulikiti y’e Mukono ssaako ekya Mukono Zonal Agricultural and Development Institute (MUZARDI) nga kino kisangibwa Ntaawo mu munisipaali y’e Mukono.
Dr. Barbra Zawedde nga ye diyirekita wa MUZARDI annyonnyodde Katikkiro nti e Ntaawo ku MUZARDI banoonyereza ku by’obulimi n’obulunzi eby’enjawulo ebyetaagibwa mu disitulikiti zonna eza Buganda.
Katikkiro atuukidde mu kifo mwe bakolera okunoonyereza n’okugatta omutindo ku nkoko ennansi nga zino bazaaluza ne bazisasaanya mu bantu ab’enjawulo ng’okwawukana ku nkoko ennansi eza bulijjo, zino zikulira mu bbanga ttono nga mu myezi ena baluubirira okuba nga ziwezezza kkiro bbiri n’ekitundu nga zaakubiikira mu bbanga lya myezi mukaaga gyokka.
Alambudde we balimira enva endiirwa mu ngeri ey’omulembe naddala eri ababeera mu bibuga aabali ewafunda, ssaako we baaluliza ebyennyanja era ebigabibwa mu babilundira mu bidiba.
Dr. Zawedde annyonnyodde nti obuzibu bwe basanze kwe kuba nti abantu abasinga ababettaanira tebalina ttaka oba ebibanja ebinene we balimira olw’okubeera mu bibuga.
Ng’ayogera, Katikkiro alaze essanyu olw’omulimu ogukolebwa mu kifo kino ekya MUZARDI n’awa gavumenti magezi ebifo nga bino ebitadde essira mu kutumbula eby’obulimi n’obulunzi ebiteekeko nnyo amaanyi kuba buli kimu ekyetaagisa okutumbuka mu by’obulimi n’obulunzi eggwanga likirina.
Katikkiro agambye nti ssinga Uganda enasoosowaza ebintu by’erinamu enkizo, ejja kusobola okweyubula mu by’enfuna. Wano anokoddeyo okulima n’okulunda n’agamba nti Uganda ekyasobola okulima n’etunda by’erimye ebweru waayo ne mu mawanga ga bulaaya.
Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuli omutongole Mary Namutebi ne kkansala John Ssebunya boogedde ku bukulu bw’ekifo kya MUZARDI eri abantu mu kitundu abakyetoolodde n’okweyongerayo.
Namutebi ategeezezza nti aba MUZARDI bazze babakolamu emisomo nga babayigiriza okulimira ewafunda ate mu ngeri ey’omulembe ng n’ensigo bazibawa.
Ye Ssebunya asabye gavumenti ekifo kino okukiteekamu ettendekero ly’eby’obulimi n’obulunzi eriyamba abantu abava mu bitundu bya Buganda ne Uganda okutwalira ewamu nga bakuguka ne bafuna ddipulooma ne ddiguli.