Bya Tonny Evans Ngabo
Abatuuze ku byalo musanvu ebisangibwa mu ggombolola y’e Masuuliita mu disitulikiti y’e Wakiso ge bakaaba ge bakomba ng’entabwe eva ku nnamutikwa w’enkuba abalese nga bafumbya miyagi.
Ebyalo ebikoseddwa mu kibuyaga ono kuliko; Nampunge , Lube, Bbaale, Mwera, Katikamu ne Gobero mu ggombolola y’e Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso nga bano mu kiseera kino tebalina we beegeka luba.
Omusasi wa Kyaggwe TV bw’abadde ayogerako n’abamu ku bakoseddwa mu kibuyaga ono bategeezezza nga bwe batamanyi kyakuzaako era ne basaba gavumenti wamu n’abazira kira okuvaayo babadduukirire.
Omubaka w’ekitundu kino ekya Busiro North Paul Nsubuga ategeezezza ng’ensonga bw’agenda okuzitwala mu wofiisi ya Ssaabaminisita wa Uganda wamu ne wofiisi y’akulira abakozi ba gavumenti (CAO) babeereko kye bakolera abantu mu kaseera kano.