Maama kalittima ali mu kunoonyezebwa poliisi oluvannyuma lw’okuzaala omwana n’amunyugunya wansi mu kaabuyonjo y’eddwaliro lya Mukono General Hospital.
Abakyala ababadde bagenze okugemesa abaana baabwe ku ddwaliro lino bwe bagenze okwetaawuluza mu kaabuyonjo be bawulidde ng’omwana akaaba ne batemya ku basawo nabo abayise poliisi.
Bino bibaddewo ku makya ga leero ku Lwokusatu September 20, 2023. We tutuukidde mu ddwaliro, nga poliisi y’abazimyamwoto yabakanye dda n’ogw’okunnyululayo omwana ono mu kaabuyonjo wadde ng’eby’eby’embi, we bamunnyululiddeyo nga yamaze dda okufa.
Administrator wa Mukono General Hospital, Moses Bwogi nga yeeyambisa abasirikale b’obwannanyini abakuuma eddwaliro agaanye ab’amawulire okukwata ekifaananyi kyonna ng’agamba nti eddwaliro lisusse okubeera mu mawulire mu ngeri enkyamu ekisiiga enziro ekifaananyi kyalyo.
Oluvannyuma lw’ebbanga lya ssaawa ng’emu ng’abasawo balwana n’okunnyululayo omwana ono, baasobodde okumujjayo ne bazinga omulambo gwe mu bugoye ne baguteeka mu kibookisi ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago nga kaweefube w’okunoonya omukyala kalittima eyakoze ekikolwa kino bwe bamutandiseeko.
Kaabuyonjo gye baasuddemu omwana y’eyo eri emabega w’ekizimbe kya kkalina ku ddwaliro ekikadde eyeeyambisibwa abakyala ababa bagenze okugema abaana n’abamu ku basawo.
Bwe twatuukiridde omwogezi wa poliisi mu bbendobendo lya Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nga bw’abadde tannaweebwa mawulire gano okuva ku poliisi y’e Mukono.