Ekisaawe ky’okuyimba kiguddemu ekikangabwa, omuyimbi Deo Mbaziira amanyiddwa ennyo nga Baby Deo Star bw’afiiridde mu Kabenje.
Baby Deo afiiridde mu kabenje mu bitundu by’e Kyengera ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Masaka.
Poliisi omulambo gwa Baby Deo egututte mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago ng’okunoonyereza ku kivuddeko akabenje Kano bwe kugenda mu maaso.
Abayimbi bangi abazze bafiira mu bubenje sso ng’era bangi abasimattuse n’ebisago.
Mu mwaka gwa 1997, Omuyimbi wa Kadongokamu eyali omwatiikirivu ennyo Basudde yafiira mu kabenje e Kabaale-Bugonzi mu bitundu by’e Masaka, omuyimbi Lady Grace eyayimba Layira ne Izon T naye yafiira mu kabenje n’abalala.
Mu kabenje akatta Lady Grace, omuyimbi eyayimba Olusuku lwa sseminti yali mu mmotoka y’emu era ono yakutuka okugulu ne gye buli eno taddanga ku luguudo.
Omukozi ku Radio y’obujajja, CBS 89.2fm Mbaziira Tony era omusanyusa ow’ebinyaanyanyaanya yagwa ku kabenje bwe yali avuga ng’agenda okukuba abantu endongo wabula ng’ono Katonda yamusimattusa bw’atyo e Magombe n’asimbayo kitooke. Mbaziira mu mmotoka yalimu n’omuyimbi Idah Muggo.