Abayizi ne bazadde baabwe bakedde mu mmisa ku kigo kya St. Andrew Kaggwa Kichwa e Mpoma, Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. Denis Kibirige mw’asinzidde okubasabira omukisa nga beeteekateeka okudda ku masomero.
Abamu ku bano oluvudde mu mmisa ne boolekera ku masomero okutandika olusoma lwa ttaamu eggulawo omwaka sso ng’ate abalala baakugenda lunaku lwa nkya okusoma lwe kunaggulwawo mu butongole.
Bano Fr. Kibirige abasabidde omukisa Katonda abasobozese okusoma obulungi, abayambe okubeera ku masomero nga balamu n’okubatambulizaako mwoyo wa magezi basobole okusoma obulungi ssaako okubabuusa obubenje mu kiseera nga badda ku masomero.
Ekigo kino kisangibwa mu ssaza lya Klezia ery’e Lugazi mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.
Ng’ayigiriza mu mmisa, Fr. Kibirige asoose kulabula abayizi bano, bazadde baabwe n’Abakristu abalala abeetabye mu mmisa eno okwewala okusindikibwa mu kwonoona olw’ebizibu.
“Wadde ng’abantu abamu batunuulira bannaabwe ababeera mu bizibu ng’abaliko bye baasobya, nga baliko emitango gye basasula, kino tekisaanye kubayigula ttama. Ggw’alina ekizibu ky’oyitamu, tosaaanidde kusindikibwa mu kwonoona olw’ekizibu, togenda ku ndagu kutandika kusamira, tologa abo b’oteebereza nti balabika be bakuleetedde okubeera mu mbeera eyo,” ebyo byonna by’oyitamu, birungi oba bibi, bikwase Katonda,” Fr. Kibirige bw’ayigirizza.
Ono abaggyiddeyo eky’okulabirako ekya Yobu mu Bbayibuli, Katonda gwe yagezesa n’amuggyako buli kimu kye yalina omuli eby’obugagga, abaana n’omukyala, n’asigala ku nsi nga yeeyaguza luggyo kyokka n’ategaana Katonda era ekiseera ne kituuka obulamu ne buddamu ne butereera.