Omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke awakanyizza enteekateeka ya gavumenti ey’okusengula bbaalakisi ya Poliisi esangibwa e Mulago olw’eteekateeka yaayo ey’okugaziya eddwaliro lino erya Mulago National Referral Hospital.
Nambooze agamba nti tewategekeddwawo kifo we bagenda kusengulira baserikale ababadde mu kifo kino ye ky’agamba nti kikyamu kubanga nabo bantu abatasaanidde kuyisibwa ng’eky’omunsiko.
Omubaka agattako enteekateeka eno esooke eyimirire okutuusa nga gavumenti efunye ekifo we banaateeka abaserikale bano ye b’agamba nti basukka ne mu 150 kyokka nti Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja yategeezezza palamenti nti bali 54 bokka.
Kigambibwa nti Ssaabaminisita Nabbanja yategeezezza ababaka ng’eteekateeka y’okugaziya eddwaliro ly’e Mulago bwe yakakasiddwa gavumenti era nga kino kijja kuviirako okusengula bbaalakisi eno etudde ku bugazi bw’ettaka bwa yiika 4.
Abasirikale ba poliisi mu ggwanga bamanyiddwa olw’eby’ensula ebitali birungi kyokka nga kaweefube w’okulaba nga gavumenti ebazimbira ennyumba ezitegeerekeka we basula nga bali ku mirimu akyagudde butaka n’okutuuka olwaleero.
Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Gen. Kahinda Otafiire yategeezezza ku nsonga eno nti okuva lwe yajja mu minisitule eno, abadde alwana ng’ayagala abapoliisi bazimbirwe ennyumba naye nga minisitule y’eby’ensimbi egiremesa okuyita mu gugaana okubawa ensimbi.