Ba RDC okuva mu bitundu ebikola disitulikiti za Buganda ez’enjawulo beerwanyeeko mu bakaama baabwe nga bagamba nti basusse okubeera mu bunkenke olw’abamenyi b’amateeka naddala ababbi b’ettaka abatulugunya n’okusengula abantu ababatiisatiisa n’okubajwetekako ebisangosango n’ebigendererwaa eby’okubagobesa mu woofiisi.
Bano bagamba nti buli lwe babeerako okusalawo ku nsonga enkulu mu bitundu byabwe, abanene abeerimbise mu nsonga ezo omuli n’ababbi b’ettaka babajwetekako ebisangosango n’okubaliisa ssente (enguzi) ze baba batalyangako ne babaloopa mu bakama baabwe ng’eby’embi, olumu bano bawulirizibwa ne batuuka n’okubagobya mu woofiisi nga tebafunye mukisa gwewozaako.
Ng’ayogera ku lwa banne, RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka, asabye abakulu okuva mu woofiisi ekola ku nsonga z’obwa pulezidenti ebatwala bulijjo okubawa omukisa okubawuliriza bwe wabaawo ababeemulugunyaako kuba emirundi egimu, waliwo okusalawo okukolebwa nga kukosa amannya gaabwe, emirimu gyabwe n’ebiseera byabwe eby’omumaaso ng’eby’embi tebamaze na kuwulirizibwa.
Bino bituukiddwako nga ba RDC ne ba DISO okuva mu disitulikiti ezikola Buganda bakungaanidde e Mukono ku Colline Hotel mu musomo ogw’ennaku ebbiri oguluubiriddwamu okubazza obuggya mu nkola y’emirimu gyabwe.
Amyuka RCC w’e Kawempe, Yasin Ndidde agamba nti oluusi basukka okufuna amasimu okuva mu bakulu ab’enjawulo nga buli omu abalagira oba yeemulugunya ku kusalawo kwe baba bakoze nga n’abamu babalemerako ne basigala nga babalondoola ne kibamalamu amaanyi mu buweereza bwabwe.
Ndidde anokoddeyo emabegako nga bateekateeka olukungaana lwa NAM, obukuubagano obwaliwo ku ppaaka emu mu kitundu kye nga bwe baabaako okusalawo kwe baakola, ate ebyavaamu n’afuna amasimu okuva mu buli nsonga mu bamanyiddwa nga ba ‘above’ nga bamuteeka ku bunkenke obutagambika.
Ne ba RDC ab’enjawulo boogedde ku mbeera gye bagambye ebaziyiza okutambuza obulungi emirimu mu disitulikiti zaabwe.
Shafiq Ali Nsubuga, omumyuka wa RDC ow’e Nansana alabudde abagagga abeenyigira mu kusengula abantu ku ttaka lyabwe ate bwe babasitukiramu ne batandika okwonoona amannya gaabwe. Mu mbeera y’emu, Nsubuga ategeezezza nti n’abamanyiddwa nga ba ‘money lender’ abawola ssente basusse okuwamba ebintu by’abantu nga basooka kubatwalako ndagamuntu zaabwe nga kino nakyo kimenya mateeka.
“Tuli basanyufu nti Pulezidenti Museveni yavaayo ku ba ‘money lender’ bano, kati emirimu gyaffe gyayanguwamu, tetukyakkiriza bantu kumala gabonyaabonya na kubba bintu bya bantu nga baabawola ssente ntono ate ne batwala emisingo gyabwe egibalirirwamu ssente ennyingi ddala.
Omumyuka wa RDC w’e Luweero, Seifu Katabazi: “Tusanze okusomoozebwa Kunene nnyo olwa bannaffe abamu abali waggulu abeeyisa mu nneeyisa etali nnungi mu bitundu byaffe ate nga bwe tuvaayo ne tuyimirira ku ludda lw’abantu ne batuddako ne batulwanyisa n’okutwonoona ng’ate oluusi amazima bano baba bagamanyi. Eby’embi, be bakama baffe mu woofiisi etutwala ne batuloopayo ne batatuwuliriza. Abantu abasinze okubonaabona mu mbeera eno b’e beebibanja. Tulina kusigala ku mazima, tufube okulongoosa ekifaananyi kya mukama waffe Pulezidenti Museveni n’ekibiina kya NRM ku bantu obuntu abenoonyeza amannya naye nga boonoona, Museveni n’e NRM.”
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’obwa Pulezidenti Hajji Yunus Kakande bano abaanukudde n’agamba nti tebasaanidde kukkiriza kutiisibwatiisibwa bantu bakyamu omuli n’abeeyita kye batali nga beekwasa oba okweyita ba ‘above’ n’abawa amagezi okukolagana ne poliisi ne ba DISO okulwanyisa abantu ekika kino.
Hajji Kakande bano era abakalaatidde okufaayo ennyo okulwanyisa obuli bw’enguzi obufumbekedde mu disitulikiti zaabwe n’agamba nti akooye okufuna amabaluwa nga bamuwandiikira nga bwe basonga ennwe mu bantu ab’enjawulo abeenyigira mu buli bw’enguzi oba okudobonkanya enteekateeka za gavumenti n’agamba nti alindiridde kimu bamuwandiikira nga balaga kye bakoledde abantu ekika ekyo.
Abasabye n’okukozesa obuyinza ne woofiisi zaabwe okusomesa abavubuka mu bitundu byabwe pulogulaamu za gavumenti ez’enjawulo n’ennono za gavumenti eno basobole okumalawo obukyayi mu bano nga balowooza gavumenti terina ky’ebakoledde.
Kakande era ayanukudde ne ku ky’enjawukana ez’enjawulo mu ba RDC n’abamyuka baabwe ssaako obukuubagano wakati wa bano n’abakulembeze ab’enjawulo aba NRM mu disitulikiti gye bava n’agamba nti obukuubagano buno bano basaanidde okutuula ne babusalira amagezi ne buggwawo ne bagenda mu maaso n’okukola emirimu.
Akalaatidde ba RDC okukolagana n’abamyuka baabwe n’agamba nti tewasaanye kubeerawo busiwuufu bwa mpisa ng’abamyuka balengezza bakama baabwe ate be balina okussaamu ekitiibwa n’okukola emirimu gye baba babawadde.
Bano era bafunye omusomo ogw’enjawulo okuva ew’eyaliko omumyuka wa Pulezidenti, Dr. Specioza Wandera Kazibwe ng’essira alisimbye ku bya bulamu. Dr. Kazibwe anokoddeko endwadde ezisusse okutta Bannayuganda omuli omusujja gw’ensiri, obucaafu obuva ku butaba na zi kaabuyonjo ssaako abakyala n’abaana abato abafa mu kuzaala nga zino zonna zisobola okuziyizibwa ssinga ba RDC beenyigira mu kusomesa abantu.