Peninah Nabaweesi, gwe balumiriza okubba embaata.

Omukulu W’essomero Bamusimbye mu Kkooti Lwa Kubba Mbaata

1 minute, 54 seconds Read

Nnaabakyala ku kyalo ky’e Nakanyonyi-Bengaazi ekisangibwa mu Nakifuma-Naggalama ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Mukono atunuulidde ebikalu mu kaguli ka kkooti, bwe bamusimbyemu ne bamuvunaana omusango gw’okubba embaata.

Peninah Nabaweesi ng’ono era nannyini ssomero erimu mu kitundu kino nga muliiranwa we Yusufu  Mulumwe yamukaliramu n’amulumiriza nga bwe yabba embaata ze ezaali mu kumaamira.

Nabaweesi olwa leero aleeteddwa mu kkooti y’e Nakifuma n’avunanibwa omusango gw’okubba embaata.

Wabula wabaddewo katemba ku kkooti eno ebadde ekubirizibwa omulamuzi w’eddala erisooka,  Peter Bukina  omusango bwe gugenze mu maaso ne batuuka n’okuwa omusibe akakalu ka kkooti, wabula nga n’amuvunana bamuwundisizza ne bamuleka mu luggya lwa kkooti nga n’ab’amawulire tebabakkirizza kuyingira mu kkooti.

Nnanyini mbaata Mulumwe alabiddwako mu luggya lwa kkooti ng’asobeddwa eky’okuzako era bw’agenze okwebuuza ku muyambi wa kkooti n’amutegeza ng’omusango gwe bwe babadde baaguwulidde edda nga n’omulamuzi yagwongezzaayo okutuusa nga April 12, 2024.

Embeera eyogedde okutabuka   omu ku basirikale ba poliisi abakola ku kkooti eno bwe bagombyemu abantu mu luggya lwa kkooti era wano n’ayita bba wa Peninah agambibwa okubba embaata n’amuteeka ku pikipiki namufulumya kkooti  ku misinde egya yiriyiri.

Ye nnanyini mbaata   Mulumwe alaze obw’enyamivu olw’engeri kkooti gy’eyimbuddemu omusibe nga naye eyatwalayo omusango tamanyiiko yadde nga n’abantu abamweyimiridde.

Ono asabye ekitongole ekiramuzi okulaba nga kimuwa obwenkanya kuba embaata zino  mw’abadde afuna ensimbi ezisomesa abaana be.

Ono agattako nti embaata zino zabbibwa nga December 6, 2023.

Mulumwe agenze mu maaso n’ategezza ng’ensonga zino bwe zatuuka n’eri adduumira poliisi y’e Naggalama n’ategezza nga ku mbaata omusanvu bwe waasigalawo emu kyokka nayo nga yagaana okugikomyawo.

Abamu ku batuuze bawerekeddeko Yusufu batubulidde obujjogoli ssaako n’obufeere obwoleseddwa ku kkooti eno mu kuyimbula Peninah agambibwa okubba embaata era nga bano bagamba nti  na buli kati tebamanyi ngeri mukyala ono gy’ayibuddwamu era bamwekanze bwekanzi nga bba amufulumya kkooti ku pikipiki ku misinde emizibu.

Gye buvuddeko, omukyala ono mu lukiiko olwatuuzibwa ku kyalo  baamulumiriza okubba embaata, era nga bwe twamutuukirira mu kwewozaako bino byonna yabyegaana n’ategeeza nti bya bufuzi ate n’embaata nti zaali zize era nga zayalulirwa wa mulirwana nga yali agenze kuzigyayo.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!