Poliisi Esimbye Bataano mu Kkooti mu Gw’okutta Lwomwa

1 minute, 24 seconds Read

Poliisi emaririzza okunoonyereza mu musango gw’okutta eyali omukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa. Abantu bataano be bakwatiddwa nga bano poliisi ebatutte okubasimba mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Rubaga Magistrate’s Court e Mengo mu Kampala.

Abavunaanibwa kuliko; Noah Luggya agambibwa okukuba Ying. Bbosa amasasi agaamutta, Harriet Nakiguli, Ezra Mayanja, Milly Naluwenda ng’ono muwandiisi mu kkooti ya Buganda esala emisango gy’ebika eya Kisekwa ne Joseph Nakabale.

Noah Luggya, agambibwa okukuba Lwomwa Bbosa amasasi agaamutta.
(Ebifaananyi byonna bya New Vision)

Mu mbeera y’emu, poliisi eri ku muyiggo gwa Tabula Luggya Bbosa agambibwa okuluka olukwe lw’okutta Lwomwa ng’ono poliisi yategeeza nga bwe yaddukira mu bizinga nga waliwo n’okuteebereza nti yayitamu n’asala ensalo n’adda mu Kenya nga mu kiseera kino gye yeekukumye.

Bbosa yakubibwa amasasi agaamuttirawo bwe yali ava okulambula ku bazzukulu be e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono nga kiteeberezebwa ng’abatemu baamulondoola okuviira ddala eyo ne bamukuba amasasi ng’anaatera okutuuka ewaka we ku kyalo Lungujja mu divizoni y’e Lubaga mu kibuga Kampala.

Abatuuze oluvannyuma lw’okulaba Lwomwa ng’attiddwa abazigu abaali ku pikipiki ekika kya bodaboda baabawondera ne babagoba ne babakwata era wano omu, Enock Sserunkuuma ne bamukuba ne bamutta ate munne, Noah Luggya poliisi n’emutaasa ng’asigaddeko kikuba mukono.

Oluvannyuma lw’okumuwa obujjanjabi mu ddwaliro e Mulago, Luggya agattiddwa ku basibe abalala abatwaliddwa mu kkooti gye bagenda okuvunaanibwa omusango gw’obutemu.

Naluwenda omuwandiisi wa kkooti ya Kisekwa ng’akaaba nga batwalibwa ne banne mu kkooti.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!