Omukubiriza W’olukiiko Lw’Abataka mu Buganda Akunze Lwomwa Okugatta Bazzukulube

Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Jjajja Namwama Augustine Kizito Mutumba akunze omukulu w’ekika ky’Endiga omuggya, Eria Luggya Lwasi okufuba okugatta bazzukulube abeeyawuddemu ebiwayi by’agambye nti bye byaviirako n’okuttibwa kwa Lwomwa omubuze, Ying. Daniel Bbosa. Okuvaayo ku nsonga eno, Jjajja Namwama abadde ayogera eri Lwomwa Luggya Lwasi oluvannyuma lw’okumumwanjulira mu butongole ku Bulange e Mengo. Lwomwa omubuze, Ying. […]

Eyapanga Olukwe Lwokutta Omukulu W’ekika Ky’Endiga Poliisi Emutaayirizza mu Bizinga

Nga Poliisi erwana obwezinzingirire okulaba ng’ekwata buli muntu eyeenyigira mu lukwe olw’okutta abadde omukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa, kaweefube waayo ow’okunyweza omusajja gwe bagamba nti ye yaluka olukwe luno yasooka n’agwa butaka, ono bwe yabagwa mu buufu ne yeemulula ebigere n’abinnyika mu nsuwa ne yeetegula ekibabu oba oly’awo ekyosi kimale okuyita. Wabula ensonda […]

Wuuno Omusajja Eyasse Omukulu W’ekika Ky’Endiga

Ekifaananyi ky’omusajja Enock Sserunkuuma agambibwa okukuba amasasi agasse omukulu w’ekika ky’endiga kizuuse. Sserunkuuma yattiddwa abantu oluvannyuma lw’okukuba amasasi Omutaka w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yagambye nti Sserunkuuma yabadde mutuuze w’e Lungujja mu divizoni y’e Lubaga mu kibuga Kampala. Abatuuze mu kitundu gye yali abeera e […]

error: Content is protected !!