Poliisi emaririzza okunoonyereza mu musango gw’okutta eyali omukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa. Abantu bataano be bakwatiddwa nga bano poliisi ebatutte okubasimba mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Rubaga Magistrate’s Court e Mengo mu Kampala. Abavunaanibwa kuliko; Noah Luggya agambibwa okukuba Ying. Bbosa amasasi agaamutta, Harriet Nakiguli, Ezra Mayanja, Milly Naluwenda ng’ono muwandiisi mu kkooti […]
Abaganda baagera nti “Ekidiba kidda wa nnyinikyo, essanja mu lusuku”, ne ffamire y’omuvubuka kalibutemu eyeenyigira mu kikolwa eky’okukuba abadde omukulu w’ekika ky’Endiga Lwomwa Ying. Daniel Bbosa amasasi agaamuttirawo, yeevuddemu n’esaba omulambo gwe okuva mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago ne bamutwala ne bamuziika mu nkukutu. Okusinziira ku nsonda enneekusifu mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago, ab’oluganda lwa […]