Abakulembeze ba NRM mu kkonsituwensi ya Busiro East mu disitulikiti y’e Wakiso basabye Minisita omubeezi owa Kampala n’emiriraano, Kyofatogabye Kabuye amanyiddwa ennyo nga Kyofa okubataasa ku munnakibiina kya NUP, Medard Lubega Sseggona Akalyamaggwa, amwesimbeko mu 2026 bbo bamuyiire obululu agende mu palamenti abakiikirire.
Bano okusaba kuno baakukoze mu nisisinkano gye baabaddemu ng’abakulembeze ba NRM ku Lwomukaaga ku kyalo Kigoma mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka mu disitulikiti y’e Wakiso.
Nga bayita mu kkansala Emmanuel Tibeyijuka, bano baagambye nti Sseggona abadde abafuukidde akayinja mu ngatto ng’ebisanja by’abakunkumudde biwera naye nga bwe beepimaapima tebalaba muntu ayinza kumwenkanya buzito mu kiseera kino ate nga ye Minisita Kyofa bamulabamu obusobozi.
“Minisita tukwegayiridde, gyangu onunule NRM okuva mu buwambe mu Busiro East, ffe ng’abakulembeze tuli beetegefu okukunoonyeza obuwagizi, ate abantu bakulabyemu embavu okusinziira ku buweereza bwo mu Kampala. Oba oweerezza bw’oti nga tulina kifo mu palamenti, kati ate bw’onatuuka mu palamenti kinaaba kitya?” Tibeyijuka bwe yategeezezza.
Wabula wadde yasabiddwa mu lujjudde, Minisita Kyofatogabye mu kwogera kwe kino yakyebalamye eby’okwesimbawo wabula n’awera nkolokooto ng’agamba nti mu kulonda kwa 2026, NRM yaakuddamu okufuna ebifo ebyali byagitwalibwako mu muyaga ogwaliwo mu kulonda kwa 2021, ababaka ba NRM bangi omuli ne ba Minisita ab’amaanyi nga Amelia Kyambadde, John Chrysostom Muyingo, Ronald Kibuule n’abalala mwe baabakubira obululu.
Mu kulonda kwa 2021, Sseggona yawangula munna NRM, Ddamba Musisi wabula ng’ono bannakibiina balaba Minisita Kyofatogabye amulinako enkizo ya maanyi. Ddamba Musisi, y’omu ku beetabye mu nteekateeka z’olukungaana luno.
Ensisinkano ya bano yabadde ya kukunga buwagizi bwa kibiina na kulaba nga bazzaamu bannakibiina amaanyi nga bammemba nga 300 n’okusoba be beetabye mu lukungaana.
Banna NRM bagamba nti nga bulijjo, baakukola bakuuke ejjembe okulaba nga Pulezidenti Museveni era awangulira waggulu okulonda kwa 2026.
Ddamba eyayogedde ku lw’abakulembeze banne yategeezezza nga bwe baswala okulaba nga NRM tefuna bululu butategeerekeka nga ku mulundi guno mu 2026 baagala bakolewo eky’enjawulo.
Minisita Kyofatogabye yasinzidde wano n’asaba banna NRM okwejjamu okwekubaguza, okwenyooma n’okwennyamira ng’ate jjajjaabwe Pulezidenti Museveni y’ali mu ntebe era kino n’abasaba okukikubira engalo.
“Mu kisanja kino nga ffe tuliko, kye kiseera NRM yeddize obukulembeze mu kibuga Kampala n’emiriraano era kino teri agenda kukiremesa kuba twasimbudde dda. Oyo yenna aneesimba mu kkubo lyaffe, tujja kumusitukiramu,” Kyofatogabye bwe yategeezezza.
Yagambye nti mu kisanja kino, kye yasooka okukolako kwe kuziyiza okwekalakaasa nga n’abo abeeyita ab’amaanyi aba NUP tebakyayinza kwenyigira mu kwekalakaasa mu kibuga Kampala nga bwe gwali edda.
Minisita era yategeezezza nti ekimu ekyayisizza olukungaana luno kwe kulaba ng’akunga bannakibiina kya NRM okwenyigira ennyo mu nteekateeka z’okuzza obuggya enkalala z’obwammemba mu kibiina.