Ssebwana Yennyamidde Olw’omuwendo gw’Abawala Abangi Abaddukira mu Bawalabu Okukuba Ebyeyo

2 minutes, 3 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Ng’abazadde mu ggwanga lyonna bali mu keetereekerero ak’okuzza abaana mu masomero agagenda okuggulawo mu butongole olunaku lw’enkya ku Mmande, Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Busiro, Ssebwana Ying. Charles Kiberu Kisiriiza akangudde ku ddoboozi eri abazadde abatayagala kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okuweerera abaana be bazaala.

Ssebwana okusinga anokoddeyo abazadde abawangaalira mu bizinga b’agambye nti bangi ku bano bakola gwa kuzaala abaana olukulamu, abalenzi nga babasindika mu nnyanja nga batandika kuvuba ate abawala nga babafumbiza ky’agambye nti ekyo kikyamu nnyo ku mulembe guno Omutebi ng’amasomero gazimbiddwa kumpi mu buli kanyomero ka nsi.

Ssebwana ng’ayogera.

Ssebwana okukangula ku ddoboozi abadde ku mwalo gw’e Kigungu mu munisipaali y’e Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso ku kabaga k’amattikira ga muwala wa ssentebe w’eggombolola ye Bussi, Charles Mukalazi Ssenkandwa nga yeebaza Katonda olwa muwala we Patricia Nakayima okumaliriza emisomo.

Nakayima y’omu ku bayizi abawerera ddala abaatikkiddwa ddiguli mu masomo ag’enjawulo ku Makerere University ku matikkira agaakulungudde wiiki nnamba ewedde, ng’ono yatikkiddwa ddiguli mu by’amawulire.

“Abaali balowooza nti okubeera mu bizinga kitegeeza bw’ozaala abaana tebalina kusoma, mulabire ku ssentebe Ssenkandwa, muwalawe wuuno emisomo agikubye oluku mu mutwe, mmwe temumwegomba? Tukomye okwesuulirayo ogwa nnaggamba, buli muzadde kimukakatako okuweerera abaana b’aba azadde, y’ensonga lwaki batulagira okuzaala abaana be tusobola okulabirira, so ssi kumala gazaala,” Ssebwana bwe yakkaatirizza.

Mu ngeri y’emu, era Ssebwana yasabye abaana abattikiddwa obuteetantala kugenda mu mawanga ga Bawalabu okukuba ebyeyo wabula n’abasaba obukugu bwe bafunye okubukozesa obulungi mu okwetandikirawo emirimu.

“Kikwasa ennaku okulaba ng’abaana b’eggwanga naddala abawala batwalibwe nga ekitagasa gye babeera bagenze okunoonya akawogo. Bangi bafiiriddeyo ate n’okuzza emirambo ne kifuuka kizibu, abazadde bangi tubalabye nga balaajana, omwana omaze okumuweerera, otunze ku kibanja omwana agende apakase e Buwalabu, mu bbanga ttono ne bakubikira nti yafa!” bwe yannyonnyodde.

Ye ssentebe Ssenkandwa yakuutidde abaana abaatikkiddwa okweyambisa okukugu bwe baafunye okusobola okuyambako bakadde baabwe kwossa n’ebitundu gye bava naddala ebizinga ebijjuddemu ebisoomooza bayambeko okubigonjoola.

Mu kwogera kwe, ye Patricia Naluyima bwe yabadde asiima bakadde be yategezezza nga bw’agenda okukozesa obukugu bwe yafunye mu by’amawulire okuyambako ekitundu ky’avaamu eky’ebizinga by’e Bussi n’ebizinga ebirala okulaba nga ensonga zokutyoboola eddembe ly’obuntu zikendeera.

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!