Lwomwa Ying. Daniel Bbosa, abadde omukulu w'ekika ky'endiga eyattiddwa.

Poliisi Y’akukunya Abakulu mu Bwakabaka bwa Buganda 6 ku Byekuusa ku Ttemu Ly’omukulu W’ekika Ky’Endiga

3 minutes, 10 seconds Read

Poliisi ng’eri wamu n’ebitongole by’eby’okwerinda ebirala enyinnyittizza okubuuliriza ku butemu bw’emmundu obwakoleddwa ku mukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa eyakubiddwa amasasi agaamutiddewo ku Ssande e Lungujja mu kibuga Kampala.

Wabula ekitiisa mu nsonga eno, kwe kuba nti okubuuliriza kwa poliisi kusonze ne mu bamu ku bakungu mu Bwakabaka bwa Buganda nga mukaaga ku bano bamaze okuteekebwa ku lukalala lw’abagenda okukunyizibwa poliisi mu kwagala okuzuula oba balina omukono mu ttemu lino oba nedda.

Wadde nga poliisi tevuddeeyo kulaga b’ani bano abasongeddwamu ennwe mu kiseera kino, wabula kitegeerekese nga mulimu abakulu abali mu bukulembeze bw’ekika ky’Endiga.

Sserunkuuma eyasse Lwomwa, ku kkono y’emmotoka mwe baamukubidde amasasi.

Bbosa y’abadde nnanyini kkampuni ya Transa Electrical Services and Contractors nga yafiiridde ku myaka 69.

Kyategeerekese nga poliisi yasobodde okuzuula essimu y’omu ku batemu, ng’eno esuubirwa okukozesebwa okuzuula b’ani abaabadde mu lukwe lw’okutta Ying. Bbosa.

Poliisi nga yeeyambisa essimu eno, esuubirwa okuzuula amasimu agazze gakubibwa mu bantu ab’enjawulo, obubaka obuwandiike obuzze buweerezebwa ku ssimu eno n’okusindikibwa okuva ku ssimu eno, engeri ensimbi gye zizzenga ziyisibwa ku ssimu eno ssaako okulondoola entambula ya nannyiniyo mu kiseera eky’essaawa 24 ezaayise okutuusa ettemu lwe lyabaddewo.

Poliisi ku lunaku lwa Mmande yakakasa nti abatemu abasse Bbosa ba kika kye nga mu bano mwe muli n’ababiri abeenyigidde obutereevu mu ttemu lino.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yategeezezza nti omu ku batemu bano ye Enock Sserunkuuma omutuuze w’e Lungujja mu divizoni y’e Lubaga wabula ng’eby’embi ye yattiddwa abatuuze oluvannyuma lw’okubagoba ne babakwata nga bamaze okutta Omutaka Lwomwa.

Enanga yagambye nti omulala nga ye yasimattuse n’ebisago ebyamutiisiddwako ebbiina ly’abatuuze ye Noah Luggya ng’ono ali mu ddwaliro e Mulago gy’afunira obujjanjabi wakati mu bukuumi bwa poliisi obw’amaanyi.

Poliisi erina essuubi nti oluvannyuma lw’okujjanjabibwa n’awona, Luggya waakusobola okuttottola akana n’akataano ku butya bwe baaluse olukwe lw’okutta Omutaka Lwomwa, ani yabadde emabega w’olukwe luno ne kalonda omulala mungi.

Kyategeerekese nti abatemu abaaluse olukwe lw’okutta Lwomwa balulukidde ebbanga lya myezi esatu egiyise nga bano okumutta baamulundodde okuva ku mukolo gw’ekika gwe yabaddeko ku mwalo e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono.

Enanga yategeezezza nti pikipiki abazigu gye baakozesezza okulondoola Lwomwa eri nnamba UFX 854F wabula ng’abatemu bano baabadde bagicanzecanze nga bakozesa ssoloteepu omuddugavu ng’ekyuse esoma UEX 754E.

Omuvuzi wa bodaboda eyakutte abatemu bano ng’akolera ku siteegi e Lungujja, kinnya na mpindi ne we battidde Omutaka Lwomwa yategeezezza ab’amawulire nti ettemu lino lyabaddewo ng’Omutaka ky’aggye abayiteko ng’abawuubidde nako.

Ono yategeezezza nti omuvubuka eyakubye Omutaka Lwomwa amasasi mulenzi muto ng’ali mu myaka nga 20 ng’era yabadde alaga nga mutendeke ng’okusobola okumugwira n’amukwata mu bulago ye yamusinzizza kiwago.

Kigambibwa nti Sserunkuuma eyattiddwa ye yabadde avuga pikipiki eyalondodde Omutaka Lwomwa era nga ye yattiddwa wabula eyamukubye amasasi asatu agaamusse nga ye Luggya ye yasimattuse n’ebisago ebyamutusiddwako abatuuze.

Ying. Bbosa yawakanyizibwa ku bwa Lwomwa ne Kkooti ya Kisekwa n’emusingisa omusango

Oluvannyuma lw’okulondebwa ku bwa Lwomwa (Omukulu w’ekika ky’Endiga), kigambibwa nti eriyo ekiwayi ekyamuwakanya nga bagamba nti si ye yali omutuufu okutuula mu ntebe eno era omusango abaali bawakanya baaguwaaba mu kkooti ya Buganda entongole emanyiddwa nga Kkooti ya Kisekwa.

Ebyafaayo biraga nti enfunda eziwera, kkooti ya Kisekwa yasala ng’omusango abaali bawakanya Ying. Bbosa bagusinga wabula n’ajulira nga n’okusembayo, eyali Minisita w’obuwangwa e Mengo, Ow’Ek: Kiwalabye Male ye yategeeza nti Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yali alagidde Ying. Bbosa y’aba asigala nga Lwomwa wabula nga kino abamu ku bazzukulu mu kika ky’Endiga baasigala kibabobbya emitwe.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!