Abaganda baagera nti “Ekidiba kidda wa nnyinikyo, essanja mu lusuku”, ne ffamire y’omuvubuka kalibutemu eyeenyigira mu kikolwa eky’okukuba abadde omukulu w’ekika ky’Endiga Lwomwa Ying. Daniel Bbosa amasasi agaamuttirawo, yeevuddemu n’esaba omulambo gwe okuva mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago ne bamutwala ne bamuziika mu nkukutu.
Okusinziira ku nsonda enneekusifu mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago, ab’oluganda lwa Enock Sserunkuuma baasabye omulambo gwe ne bamutwala ne bamuziika e Ssemuto ng’okuziika kwabadde kwa kimpoowooze nnyo.
Omulambo gwa Sserunkuuma gubadde gukuumibwa mu ggwanika e Mulago okuva nga February 25, 2024, ng’ono abantu baamutaayiza ne bamukuba ne bamutta nga beesasuza olw’okutta Ying. Bbosa ate nga baamukuba masasi obudde emisana ttuku.
Ettemu lino lyali Lungujja mu divizoni y’e Lubaga mu kibuga Kampala, kinnya na mpindi n’amaka g’Omutaka Daniel Bbosa. Ono abatemu baamulondoola okuva e Katosi gye yali ava okulambula ku bazzukulube.
Oluvannyuma lw’okukwasibwa omulambo, aba ffamire kigambibwa nti baapangisizza kkampuni ekola ku by’okuziika n’ebayamba ensonga eno n’egiyisa mu bwangu.
Wadde mu kusooka aba ffamire baabadde bategeezezza ab’egganika e Mulago ng’okuziika bwe kwabadde kugenda okubeera e Busunju, bambega ba poliisi abaagoberedde ensonga eno baakizudde ng’okuziika ate tekwabadde eyo wabula kwabadde Ssemuto.
Ye munne wa Sserunkuuma bwe beenyigira mu ttemu lino, Noah Luggya nga ye yasobola okusimattuka n’ebisago eby’amaanyi akuumibwa mu ddwaliro e Mulago gy’ali mu kuweebwa obujjanjabi. Poliisi egamba nti ono agiyambye nnyo mu kunoonyereza kw’eriko okuzuula ani ddala omutuufu eyali mu lukwe lw’okutta Ying. Bbosa.
Ne poliisi mu kiseera kino enyinnyittizza okubuuliriza mu musango guno nga we twogerera ng’abantu musanvu ne baakakwatibwa omuli Luggya, omuwandiisi mu kkooti ya Kisekwa, Milly Naluwenda n’abalala okuva mu kika ky’Endiga.
Poliisi era eri ku muyiggo gw’omusajja Tabula Luggya Bbosa ng’ono agambibwa okukola emikolo ne yeetuuza ng’omukulu w’ekika ky’Endiga omutuufu oluvannyuma lwa kkooti ya Kisekwa okusala omusango n’eraga nti ye yali Lwomwa omutuufu wabula ate kati omugenzi, Ying. Daniel Bbosa n’ajulira ewa Kabaka.
Ying. Bbosa yaziikiddwa ku butaka bw’ekika ky’Endiga e Mbale mu Mawokota ku Ssande nga March 3, 2024 era Lwomwa omuggya, Eria Buzaabo Lwasi n’atuuzibwa wakati mu bulombolombo bw’ekika okugobererwa.