Kabaka Asiimye N’agabula Abalangira N’Abambejja – Basisinkanye mu Lubiri e Mmende

2 minutes, 19 seconds Read

BYA ABU BATUUSA

Empologoma ya Buganda, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’agabula ab’Olulyo Olulangira ng’akabonero ak’obumu n’okwongera okumanyagana mu lulyo luno. Bino byabadde mu ttabamiruka waabwe ow’omulundi ogw’omukaaga awamu n’okubanjulira ebiteeredwawo mu nteekateeka y’okukulaakulanya Olulyo Olulangira mu Buganda.

Omukolo guno gwayindidde mu Lubiri lwa Ssekabaka Mawanda e Sserinya mu Gombolola y’e Mmende mu disitulikiti y’e Wakiso nga omugenyi omukulu ye mulangira Felix Muteesa wamu ne Ssaabalangira Godfrey Kikulwe Musanje nga muno baasiimiddemu n’abamu ku Balangira, Abambejja, ba Naava ne ba Ssaava abakoze obutaweera okulwanirira Olulyo Olulangira.

Omulangira Muteesa mu kwogera kwe yasabye abakulu b’emituba gy’Abalangira okuvaayo bawabule ku baana n’abazzukulu be bazadde b’agamba nti empisa tebakyalina nga kati batandise n’okwanukula Kabaka ekiswaza enyo Obuganda.

Wano Ssaabalangira Kikulwe mu kwogera kwe yavumiridde ensobi eziri mu Balangira n’Abambejja omuli entalo eziyitiridde nga buli abaako ky’akola balwanyisa mulwanyise kye yagambye nti kiyitiridde nga na bwe kityo kisaana okukyusibwa kuba kibasibidde nyo emabega.

Bwe yatuuse ku ky’enkulaakulana mu Balangira n’Abambejja yategeezezza nti kati kikwasa n’ensonyi nga bangi banaabwe beemalidde mu ttamiiro na kutunda ttaka lya masiro ne balowooleza mu kuweebwa ekibaweebudde ebitagambika n’asaba omuze guno gukome bunnambiro.

Atabukidde abakyeremezzaamu enkola ya gavumenti etuyambe n’okutandika okwekangabiriza nga banenya Kabaka mbu tabayambye n’abasaba okukikomya kuba okukulembera gavumenti k;ebeere eya wakati oba Obuganda ssi kyangu kuba obwetaavu omukulembeze mu kkowe eryo abeera na bungi nyo ekisaana buli muntu okwerwanako.

Naava Kaana omukwanaganya w’Olulyo Olulangira mu Buganda mu kwogerakwe ayogedde ku makulu ga ttabamiruka ono n’ensonga lwaki Ssaabasajja yasiima n’amuteekawo n’agamba nti ayamba abantu bonna abagwa mu lulyo Olulangira okukungaana ne beekubamu ttooki ku butya bwe batambula n’okutema empenda ku butya bwe bayinza okweyongerayo mu maaso.

Naava Kaana asinzidde wano n’aloopera Ssaabasajja Kabaka bajjaajja ab’Emituba gy’Abalangira nga bwe bakyalemeddwa okugatta abaana n’abazzukulu abagwa mu mituba gyabwe nga kati baatandika kwerwanyisa bokka na bokka ekitalina gye kitwala lulyo Lulangira okujjako okubasuula mu ntata n’okubaaluzaamu.

Nga ajuliza ebigambo bya Kabaka bye yayogera mu mwaka gwa 2016, agambye nti Maaso Moogi yakunga Abaganda ‘Okulemerako bwe kutuuka ku kununula ebyaffe’ era nabo ne bawera obutaweera n’okulwanyisa abakola ebibaswaza n’okutunda embiri okuzimalawo.

Yennyamidde ku nkwe enge n’okwerumaaluma mu lulyo Olulangira n’abasaba okukikomya bazzeewo obumu bw’agambye nti bwe bwokka okunaayamba okutwala Buganda mu maaso.

Oluvanyuma, Omulangira Muteesa akwasizza Abalangira n’Abambejja abakoze obulungi amabaluwa agabasiima era nga ba Nnaalinya okuva mu masiro ag’enjawulo abakulembeddwamu Nnaalinya Sharifah, Nnaalinya Florence Nabakaabya ne Nassiwa Nawatti III nabo baliko bye basabye Abalangira omuli n’okukuza abaana mu mpisa kuba kati ebyogerwa Abalangira biwebuula ekitiibwa kyabwe.

Think Twice Before You Quit, No U-Turn: RDCs Intending to Join Politics Warned

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!