Kyaggwe, Buluuli ne Mawokota Ziwangudde mu Giggulawo Egy’amasaza 2025

Emipiira gy’amasaza ga Buganda 2025 mu bibinja eby’enjawulo gigguddewo wiikendi eno okuva eggulo ku Lwomukaaga ne leero ku Ssande. Ebivudde mu mupiira egisoose biraga nti muvuddemu ggoolo 13 mu mizannyo 9. Kabula 0-0 Ssingo Ssese 0-2 Buluuli Kyaddondo 1-0 Bulemeezi Mawokota 2-1 Buweekula Kyaggwe 2-0 Kooki Busujju 1-0 Busiro Bugerere 1-1 Buvuma Mawogola 1-0 Butambala […]

Omubaka Nayebare Ayiye Kavu mu Ttiimu Y’Essaza Ly’e Gomba

Nga ttiimu z’amasaza ag’enjawulo ziri mu kwetegeka okwa kaasa mmeeme ng’okuggulawo empaka z’omupiira z’amasaza 2025 kubindabinda, bbo Bannaggomba bali mu kuzina gunteese oluvannyuma lw’omubaka wa palamenti omukyala okubayiwamu omusimbi. Sylvia Nayebare, nga ye mubaka omukyala owa palamenti akiikirira disitulikiti y’e Gomba ttiimu y’essaza agiyiteemu ensimbi obukadde 10. Ensimbi zino zikwasiddwa omuwanika wa ttiimu Livingstone Kasule, […]

Ttiimu Z’omupiira Entebbe zittunse mu Lubwama Stuart Cup

Abantu beeyiiye mu bungi ku kisaawe ky’Entebbe mu kuggalawo ttoonamenti eyategekebwa Stuart Lubwama ng’ono yeegwanyiza obubaka bwa Palamenti obwa munisipaali y’Entebbe. Mu bamu ku baabaddewo ng’abajulizi nga ttiimu zino zibbinkana kwabaddeko Omubaka wa Busiro North Nsubuga Paul, Mmeeya wa Kyengera Town Council ate nga muyimbi Sir. Mathias Walukagga ne bannabyabufuzi ab’ekibina kya NUP n’abalala. Ttoonamenti […]

Buddu Ewangudde Kyaggwe mu Mpaka Z’Amasaza 2024

Essaza lya Buddu liwangudde ery’e Kyaggwe mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2024. Omuzannyi Micheal Walaka y’ateebedde Buddu ggoolo emu yokka mu kitundu ekisooka, ng’eno gye bazibidde okumalako eddakiika 90. Essaza ly’e Buddu lyakawangula ekikopo ky’Amasaza emirundi kati esatu ng’ogwasooka gwali gwa 2016, 2021 ne 2024. Ddyo essaza ly’e Kyaggwe guno gwe mulundi gwe lisookedde ddala […]

Kabaka Asiimye Okubeera e Namboole mu Gw’Amasaza Nga Kyaggwe Ettunka ne Buddu

Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okggulawo omupiira gw’amasaka ng’amasaza okuli Kyaggwe ne Buddu geemala eggeyangana mu ffayinolo y’Amasaza ga 2024 eyindira mu kisaawe e Namboole. Abantu ba Kabaka ababemberedde mu kisaawe kyonna babuze okufa essanyu emizira ne gisaanikira ekisaawe kyonna nga balaba ku Mpologoma. Mu kiseera kino omupiira guno gumaze okuggyibwako […]

Kyaggwe Ya Kuttunka na Buddu ku Ffayinolo Z’amasaza e Namboole

Ffayinolo y’omupiira gw’amasaza 2024 yakunyumira abalabi e Namboole nga batabani ba Ssekiboobo ab’essaza Kyaggwe battunka n’aba Ppookino ab’essaza ly’e Buddu. Bannakyaggwe bawera nkolokooti nti Buddu bukyanga erya myungu, leero eridde butanga, anti mbu Katonda waabwe abavuddemu, katisa abasudde ku Bakunja, eby’okubala ekikopo eky’okuna kye kiseera babifuuwe ku nninga kuba bbo luutu eno ne Katonda waabwe […]

FA Esazizzaamu Red Card ya Bruno Fernandez Aba Man U Ne Bacacanca

Bazzukulu ba Sir Alex Ferguson, abawagira ttiimu Manchester United bali mu kuzina gunteese oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti Red Card eyaweebwa captain waabwe FA egisazizzaamu. Nga basamba ttiimu ya Tottenham ku Sunday, nga September 29, 2024, mu mupiira mwe baa awangulira ku ggoolo ssatu ku bwereere, captain wa Man U, Bruno Fernandez yaweebwa kkaadi emmyuufu era […]

Katikkiro Akunze Bannayuganda Okweyiwa e Namboole mu Bungi Okuwagira Cranes

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze Bannayuganda okweyiwa e Namboole mu bungi okuwagira ttiimu y’omupiira ey’e ggwanga, Uganda Cranes ng’esamba mu gw’okusunsulamu abanaasamba mu mpaka za Africa ez’akamalirizo. Uganda Cranes esamba Congo Brazaville akawungeezi ka leero (Monday) ku ssaawa emu nga gugenda kubeera ku bitaala. Katikkiro agamba nti omusambi ow’e 12 ye muwagizi ggwe […]

Gavumenti Yakwongera Amaanyi mu Kutumbula Ebitone mu Baana N’abavubuka

BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Gavumenti ekakasiza nga bw’egenda okwongera amaanyi mu kutumbula eby’emizannyo naddala emisinde, okusamba emipiira, okubaka, volleyball n’ebirala. Okuvaayo kiddiridde Munnauganda Joshua Cheptegei okuteeka bendera ya Uganda ku mmaapu bwe yawangudde omudaali gwa Zaabu mu kutolontoka embiro empanvu eza mmita omutwalo mu mizannyo gya Olympics egiyindira e Bufalansa. […]

Buddu Eyongedde Okuvuya mu Gy’amasaza-Bugerere Eginyiyizza Endiba

Amasaza ag’enjawulo gakyagenda mu maaso n’okweriisa enkuuli mu mupiira gw’amasaza 2024 sso ng’ate n’ezikyavuya nazo nnyingi. Erimu ku gakyavuya y’e ttiimu y’essaza ly’e Buddu ng’eno ne gye buli eno ekyavuya. Bannabuddu bakubiddwa essaza ly’e Bugerere ku ggoolo 1-0 nga babadde ku bugenyi. Ng’eno ssande ya kusatu bukyanga empaka z’omwaka guno ziggyibwako akawuuwo, ne bannantameggwa b’ekikopo […]

error: Content is protected !!