Kitalo! Bp. Samuel Balagadde Ssekkadde Afudde!!! Ekikangabwa kibuutikidde ekkanisa ya Uganda oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omulabirizi w’e Namirembe eyawummula, Samuel Balagadde Ssekkadde. Bp. Ssekkadde afudde lwaggulo lwa leero nga October 14, 2024. Kitegereekese nga musajja wa Katonda afiiridde mu ddwaliro e Kisubi. Bp. Ssekkadde yali mulabirizi w’e Namirembe wakati w’omwaka 1994 okutuuka mu 2009.
Bya Kawere Wilberforce Eklezia katolika yennyamidde olw’obusiwuufu bw’empisa obweyongera mu baana buli lukya. Ng’akulembeddemu mmisa ey’okusabira abayizi abateekebwateekebwa okukola ebigezo eby’akamalirizo okuli aba P.7, S.4 ne S.6 okuva mu masomero ag’enjawulo nga bakungaanidde ku St. Francis Borgia High School e Buguju mu kibuga Mukono, omubeezi w’omusumba atwala essaza ly’e Lugazi, Msgr. Dr. Richard Kayondo asabye abazadde […]
Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo akunze Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’akulembera okuva mu tulo basitukiremu balwanirire ettaka ly’ekkanisa. Bp. Kagodo agamba nti tekigasa Abakulisitaayo okweyisa ng’Abatuukirivu ng’eno bbo ababbi b’ettaka bwe bamalawo ettaka ly’ekkanisa. Omulabirizi agamba nti okumala ebbanga ddene, ng’ekkanisa babadde beekubira enduulu mu bavunaanyizibwa mu gavumenti okuli okuloopa emisango ku poliisi ng’ebintu […]
Abakkiriza baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omusumba waabwe mu kabenje. Pr. Sharif Micah owa House of Liberty Church Kiwanga esangibwa mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono ye yafiiridde mu kabenje Ka bodaboda. Kigambibwa nti Pr. Micah yabadde ku bodaboda ng’ava ku mulimu gwa njiri mu kkanisa emu esangibwa e Kayunga mu munisipaali […]
Ng’eby’obufuzi bizinzeeko buli kimu mu kiseera kino mu ggwanga, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ayimirizza abaweereza okuyingiza eby’obufuzi mu kkanisa. Ssaabalabirizi agambye nti ekkanisa ya buli omu nga tesosola mu langi, emmyufu, eya kyenvu, bbulu, kiragala n’endala ng’omuweereza mu kkanisa bw’atandika okusukkulumyako abamu ku bantu ba Katonda olw’eby’ebigendererwa eby’eby’obufuzi, ekyo kiba […]
Abasiraamu ku muzikiti gw’e Ntaawo bagabidde abantu abaliko obulemu obugaali bw’abalema busatu okubayambako ku kizibu ky’entambula. Monica Rwaheeru nga y’asakidde abalema obugaali buno asabye Abasiraamu ne Bannayuganda okwewala okuyisa mu balema amaaso ng’agamba nti bano okufuuka kye bali tebalina musango gwe bazza nti kati bsasula kibonerezo. Bano obugaali bwabakwasiddwa mu kusaala Juma ku muzikiti gwa […]
BYA TONNY EVANS NGABO NANSANA | KYAGGWE TV | Omulangira wa Klezia, Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemwogerere alaze okutya n’okunyolwa olw’ebikolwa ebikuumira abantu ku bunkenke ebyogera mu ggwanga buli lukya. Ssaabasumba agamba nti abantu mu ggwanga basusse okuliisa bannaabwe akakanja ne bababuzaako obwekyusizo nga buli kadde babakuumira ku bunkenke. Okwogera bino, Ssaabasumba abadde […]
Waliwo bakiggala abakoze embaga emenye n’ebidaala e Kigunga mu kibuga ky’e Mukono. Embaga eno ebadde ku kkanisa ya Kiyunga SDA e Mukono ng’esombodde abantu ab’enjawulo ababadde batakikkiriza nti ekirema aboogera, abatoyogera bakiggala bakisobola. Shariya Nalule agattiddwa ne mwana munne Ronald Kakinda ng’omukolo gw’okubagatta gubadde ku kkanisa ya Kigunga SDA esangibwa ku kyalo Kigunga mu divizoni […]
BYA TONNY EVANS NGABO KIRA | KYAGGWE TV | Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe kitaffe mu Katonda Moses Banja mwenyamivu olw’emivuyo egigenda mu maaso mu Minisitule y’eby’ettaka mu ggwanga ng’agamba nti gino gye giviiriddeko ekibba ttaka okwongera okwegiriisa ng’ekigotta entula. Bp. Banja agamba nti egimu ku mivuyo egikudde ejjembe kwe kufulumya ebyapa ebisoba mu kimu ku […]
BYA TONNY EVANS NGABO NAMUGONGO | KYAGGWE TV | Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogere asaasidde abantu abaafiiriddwa abantu baabwe kasisiro w’e Kiteezi be yabuutikidde ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ate ne bafa n’ebintu ebiwerera ddala ne bitokomoka. Ssaabasumba okwogera bino yasinzidde mu kitambiro kya mmissa ekyabaddemu okukuza olunaku lw’abaana Bannakizito mu […]