Oluvannyuma lw’akakiiko k’eby’okulonda okuta abeesimbyewo mu kujjuza ekifo ky’omubaka wa palamenti owa Kawempe North okunoonya obuwagizi mu balonzi, Bannakibiina kya NUP wakati mu bunkenke engabo bagirumizza mannyo.
Bano nga bakulembeddwamu amyuka pulezidenti w’ekibiina owa Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi, ababaka ba palamenti okuli ow’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke, owa Mukono North, Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni, Francis Zaake Butebi owa Mityana, Muwanda Nkunyingi ow’e Kyaddondo n’abalala, enkambi baagikubye dda mu konsituensi okulaba nga teri kiremesa Erias Luyimbaazi Nalukoola, akutte kkaadi ya NUP kutambuza kkampeyini ze mpozzi n’okuvuganya obulungi.
Kyokka nga bwe gwali lwe yeewandiisa, Nalukoola n’awambibwa ab’eby’okwerinda abaali mu byambalo by’abalwanyisa abatujju aba JATT, wadde ng’oluvannyuma yamala n’ateebwa, abali mu nkambi ya Nalukoola bagamba nti ne gye buli eno abantu baabwe bakyawambibwa ab’eby’okwerinda nga n’akyasembyeyo ye mubaka wa palamenti Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni owa Mukono North ng’ono yawambiddwa akawungeezi k’eggulo nga bava ku laale yaabwe.
Wabula, Kyaggwe TV etegeddeko nti ne Mulimamayuuni bano baamaze ne bamuta. Amawulire g’okuwambibwa kwe gaafulumiziddwa omubaka munne, Muwada Nkunyingi ng’ayita ku mukutu gwe ogwa X ogwali guyitibwa Tweeter.
Ababaka n’aboogezi abenjawulo mu kwogerako n’abalonzi bakira ababaaniriza mu bungi, baabasabye obutafuna katengo kuba ebikolebwa ab’eby’okwerinda mu Kawempe ennaku zino biruubirirwa kuteeka mu balonzi katengo batye okugenda okulonda omuntu waabwe.
Nalukoola avuganya n’abantu abalala mwenda nga gwe basing okubeera naye ku mbiranye ye munnakibiina kya NRM, Hajjati Faridah Nambi. Okulonda kwakubeerawo nga March 13.



