Abawagizi ba Kyaggwe nga boolekedde Bugerere.

Kyaggwe Ewera Kukubira Bugerere omwayo-Abawagizi beeswanta!

1 minute, 3 seconds Read

Ab’e Bugerere bwe bateesiba bbiri, leero ekisaawe ab’e Kyaggwe batuuse okukijjuza babuleko we balabira omupiira, anti bbo balina engombo nti ttiimu bw’ebakyaza bagiwa ssente ne bagitwala obubonero, lindirira…

Olwa leero ekibanyi kigenda kugwa n’amenvu ku kisaawe e Ntenjeru mu ssaza lya Kabaka ery’e Bugerere Bannakyaggwe gye bagenze mu bungi okuwagira ttiimu yaabwe ey’essaza.

Kyaggwe mu mupiira ogwa ggulawo ku Bishop S.S e Mukono yawangula Bugerere ku ggoolo emu ku bwereere nga leero lwe kiggwa okuzuula ani ku Kyaggwe ne Bugerere agenda okwegatta ku Gomba ku ffayinolo enabeera ku kisaawe e Wankulukuku.

Omuwagizi wa Kyaggwe ku mmotoka ng’awaga.

We ziweredde ssaawa bbiri ez’okumakya ng’abawagizi baatandise dda okulumba e Bugerere mu bidduka eby’enjawulo. Abamu bagendedde ku bodaboda, emmotoka eza buyonjo, zi bbaasi zi kabandole ne bi loole.

Ab’e Bugerere bwe bateesiba bbiri, leero ekisaawe ab’e Kyaggwe batuuse okukijjuza babuleko we balabira omupiira, anti bbo balina engombo nti ttiimu bw’ebakyaza bagiwa ssente ne bagitwala obubonero, lindirira…

Jjajja wa Kyaggwe ng’ali mu kuwuubira ku bawagizi nga bwe beeyuna Bugerere.
Omuwagizi wa Kyaggwe ku mmotoka ng’awaga.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!