Dr. Anthony Kkonde, the Mukono Municipality Principal Health Officer.

Abatemu Bateeze Dr. Kkonde ne Bamutema ku Mutwe-Yeetaaga Ssaala!!!

1 minute, 49 seconds Read

MUKONO | KYAGGWE TV | Embeera y’akulira eby’obulamu mu munisipaali y’e Mukono, Dr. Anthony Kkonde mbi oluvannyuma lw’okuteegebwa abazigu abaamutemye n’okumukuba ku mutwe mu kiro ekikeesezza olwaleero ku Lwokuna.

Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okuba ng’ewaka we waliwo emirimu egikolebwa nga yabadde tasobola kusuzaawo mmotoka, yawaliriziddwa okugitwala ku Jobiah Hotel n’agireka eyo olwo n’atambuza ebigere okudda ewaka, ng’eno gye yagwiridde mu bazigu ab’ebijambiya ne bakutema n’okumukuba ku mutwe n’ayisibwa bubi nnyo.

Kyaggwe TV eyogeddeko ne mukyala wa Dr. Kkonde nga ye Proscovia Kkonde, ategeezezza nti ono abadde atwaliddwa mu ‘theatre’ okumulongoosa kyokka n’agamba nti yeetaaga ssaala…

Herona Hospital Kisoga Conducts Free Eye Surgery Camp

David Ssemwogerere nga ye w’eby’okwerinda ku lukiiko lw’ekyalo Upper Kauga yagambye nti Dr. Kkonde obulumbaganyi yabufunidde wakati wa woteeri ya Jobiah n’amaka ge ng’eby’embi oluvannyuma lw’okumutema, abazibu badduse ne bamuleka nga mu kifo kino we yasuze ng’alabiddwa ku makya.

Dr. Kkonde bamuyoddeyodde ne bamuddusa ku ddwaliro lya Mukono General Hospital ng’eno abasawo olw’embeera gye yabaddemu nga beetaaga okumanya obuvune bwe yafunye ku mutwe baamwongeddeyo mu ddwaliro lya St. Francis e Naggalama okufuna ekifaananyi ky’omutwe (CT Scan) kyokka ng’eno nayo oluvannyuma lw’ekifaananyi kino okulaga nga yabadde akoseddwa nnyo ku mutwe nga kuliko amagumba agaayatise nga n’omusaayi gulabika gwabadde gugenze ne mu bwongo, baamwongeddeyo mu ddwaliro e Mulago.

Akulira eby’obulamu mu disitulikiti y’e Mukono, Dr. Stephen Mulindwa ategeezezza nti wadde Dr. Kkonde yabadde wyogeddwayo mu ddwaliro e Mulago, aba ffamire ye baasazeewo ne bamutwala mu ddwaliro e Nakasero.

Ekigenderwa ky’obulumbaganyi obwakoleddwa ku Dr. Kkonde tekinnetegeerekeka sso nga yo poliisi ebakanye n’okubuuliriza.

Luke Owoyesigyire nga y’amyuka omwogezi wa poliisi owa Kampala n’emiriraano agambye nti poliisi ensonga zino ezitegedde luvannyuma nga tebaasoose kugitegeeza.

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka asaasidde Dr. Kkonde n’aba ffamire ye olw’obulumbaganyi obwamukoleddwako.

Ndisaba agambye nti bagenda kukola ekisoboka okulaba nga batuula ng’ab’eby’okwerinda basale amagezi okulaba nga banganga abazigu abafuuse ab’obulabe eri Mukono.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!