Akakiiko K’eddembe Ly’obuntu Kasitukiddemu Olw’amakampuni G’Abachina Agayasa Amayinja Agakosa Abantu

2 minutes, 8 seconds Read

Abakakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso kasitukiddemu oluvannyuma lw’abatuuze okwekubira enduulu gye kali nga beemulugunya ku makampuni agayasa amayinja ge bagamba nti gabakosezza mu ngeri ezitali zimu omuli n’okukosa obulamu bwabwe kyokka nga ne bwe beekubira enduulu mu be kikwatako teri kikolebwawo.

Akakiiko kano okutuuka okuvaayo kiddiridde abatuuze ku byalo bisatu okuli Busawuli, Buteregga ne Bumera mu ggombolola y’e Mende mu disitulikiti y’e Wakiso okwekubira enduulu gye kali nga beemulugunya ku kkampuni y’Abachina ekuba amayinja mu kitundu kyabwe eya King Long ebasuza ku tebuukye.

Abatuuze mu lukiiko olwa kulembeddwa ab’akakiiko k’eddembe ly’obuntu.

Bano balumiriza nti emirimu gya kkampuni eno giviiriddeko ennyumba zaabwe okuggwamu n’endala ezirimu enjatika ennene ddala, abakyala okuvaamu embuto wamu n’okufuna ebirwadde ebiva ku lufufugge oluva ku mayinja kyokka ng’ate buli lwe bavaayo okwekubira enduulu abakulu mu kkampuni eno babatiisatiisa wamu n’okubajerega.

Ssentebe w’akakiiko kano mu disitulikiti y’e Wakiso, Elly Kasirye agamba nti essira kati bagenda kuliteeka ku bitongole bya gavumenti wamu n’abakulembeze abawa kkampuni zino olukusa olukolera mu bitundu ate omuli abantu nga tebafuddeeyo ku binavaamu na ngeri gye biyinza okukosa obulamu bw’abantu nga kino kimenya mateeka.

“Tugenda kuteeka ku nninga ekitongole ekivunaanyizibwa ku buttoned bw’ensi ekya NEMA wamu n’ebitongole bya gavumenti ebiwa  olukusa kkampuni  ezikuba amayinja mu ggwanga olw’obutagoberera ddembe lya Bannayuganda nga bawa amakampuni gano olukusa okukola emirimu mu bitundu omuli abantu. Balina okuvaayo bannyonnyole ku nsonga zino balabe na butya embeera eno gy’eyinza okusalirwa amagezi nga kino bwe kinagaana twakulaba kye tuzzaako,” Kasirye bwe yategeezezza.

Abakulembeze mu kitundu okuli ssentebe w’eggombolola y’e Mende Ntume Peter ne ssentebe w’ekyalo ky’e Busawuli,  Kawagga Edward bagamba nti abatuuze balemeddwa okweyambayamba okulaba nga baggusa ensonga eno eve mu ddiiro nga balumiriza nti bangi ku bano basaba ssente nnyingi okuva mu kkampuni y’Abachina mu nteekateeka y’okubaliyirira ekibaviirako okubeetolooza ebanga eddene.

Mu kwogerako n’abakulu abadukanya  kkampuni y’Abachina eya King Long , ssenkulu waayo  amanyiddwako erya Tanga agamba nti ne wankubadde nga waliwo ebisomooza naye bakola butaweera okulaba nga ensonga bazitereeza ng’ate balina nabo bye bakoledde ekitundu wakati  nga abatuuze abamu  babakanda ensimbi empitirivu.

Ezimu ku nsonga akakiiko ze katunuulidde y’ensonga y’abantu abakosebwa mu nteekateeka y’okwasa amayinja ng’ate basukka mu kibangirizi (buffer zone) eya mmita 200 ezaatekebwawo ekitongole kya NEMA ze bagamba nti tezimala kubanga n’abali mu mmita 500 nabo bakosebwa ekitagambika.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!