EBYAFAAYO KU MMAMBA – LUNGFISH (Protopterus Annectens)

1 minute, 43 seconds Read

EBYAFAAYO KU MMAMBA – LUNGFISH (Protopterus Annectens)

● Emmamba esobola okubeera mu kifo ekimu nga terya era nga tenywa okumala emyaka etaano (state of Aestivation)

● Emmamba erina gills ate ne lungs ekigisobozesa okussizza mu mazzi ne ku lukalu.

● Emmamba ery’omuddo, ebikere, amakovu n’obwennyanja obutonotono.

Omusajja ng’akutte emmamba eyawanvuwa obulungi.

● Emmamba ewanvuwa okutuukira ddala ku fuuti ttaano oba mukaaga.

● Ku bizinga by’e Ssese tekugendako mmamba ekoma ku myalo qbagyagala kwe bagiriira.

● Emmamba esobola okweryako ekyenkira singa ebeera erudde okufuna ky’erya.

● Emmamba tosobola kugisanga mu Europe! Esangibwa wano mu Africa, Australia ne South America.

● Abakazi Abaganda tebalina kulya mmamba kubanga erina amabeere.

● Ab’eddira Emmamba be bakuuma empingu za bbeene. (Empingu lye ggye lya Kabaka ery’oku mazzi)

● Ebyafaayo biraga nti ab’eddira Emmamba balangira abava mu Ssekabaka Bbemba.

OWAAYE BINO EBIKWATA KU MMAMBA OBADDE OBIMANYI?

● Ng’oggyeeko nti tulina ab’eddira Emmamba ya GABUNGA n’eya KAKOBOZA naye ate emmamba zirimu emirundi era ebiri.

1. Protopterus aethiopicus (Marbled lungfish)

2. Protopterus annectens (Tana lungfish)

Ab’Emmamba Gabunga mweddira esooka waggulu. Emmamba Nnamakaka.

● Emmamba ya Gabunga

● Akabbiro Muguya (Omuguya y’emmamba ento)

● Obutaka bw’ekika ky’e Mmamba Gabunga busangibwa Ssagala Buwaya mu ssaza ly’e Busiro.

● Omubala guvuga nti;

” Akalya kokka, akalya kokka, ke keetenda obulyampola,

ssirya mmamba, amazzi nnywa, eno si mmamba Nnamakaka.

Gwe ndisanga mu menvu n’ebikuta alibirya.”

 

● Ab’emmamba basibuka mu Ssekabaka Bbemba, Kabaka eyasembayo mu nsi nga ekyayitibwa Muwawa.

● Mutabani wa Bbemba ayitibwa NDIIRA yaddukira Bugisu era muno mwemuva Gabunga.

● Jjajja wab’emmamba ono Ndiira yali akomawo e Buganda n’abaana n’abazzukulu n’afiira e Kirinnya mu Busoga.

● Omusika wa Ndiira ye Mubiru era ono yatabaaza banne ne batuukako ne Bumogera ( Sijja kwogera byaliyo eyo naye mutabani wa Mubiru ayitibwa Katenda yazzaayo Omusango)

● Mubiru yasitula abantube naayitira mubizinga bye Buvuma eyo gyeyaleka mutabaniwe Kisanje e Maggyo.

Maggyo y’embuga enkulu ey’essaza ly’e Buvuma.

● Yayitirako e Mangira mu Kyaggwe olwo naayolekera ebizinga by’e Ssese era eyo kumpi buli kizinga yalekeyo omwana okutuusa bweyatuuka e Ssagala Buwaya.

Abalya emmamba bagamba nti mpoomu nnyo, bagirya nga nsiike sso ng’ate abalala bagifumba ne bagiwuutamu ka ssupu.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!