Bya Tonny Evans Ngabo
Ssentebe wa district ye wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika ssi musanyufu olw’abakulu mu gavumenti naddala minisitule y’eby’entambula mu ggwanga olw’okulemererwa okukola ku nsonga eziruma abantu mu bizinga by’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso ekireetedde n’abakozi ba gavumenti be basindika mu bizinga okugaana okukolera e Bussi nga kigootanyizza nnyo obuweereza bw’emirimu mu bitundu by’ebizinga.
Bwanika okwogera bino yasinzidde Bussi mu kuggulawo ppulojekiti y’amasannyalaze g’enjuba egenda okukola mu ggombolola yonna n’attottola ebizibu ebiri e Bussi nga agamba nti bazzenga babibuulira abakulembeze waggulu mu gavumenti naye nga bakyafuuse ba kyesirikidde. Ssentebe agamba nti ng’ate ekibeewuunyisa kwe kuba nga Minisita w’eby’entambula n’enguudo Gen. Edward Katumba Wamala yalagira ekizinga kino okuweebwa ekidyeri ekyali kivudde e Buvuma naye nga okuva mu mwezi gw’omukaaga omwaka oguwedde n’okutuuka olwaleero kino tekituukanga.
Ono era agugumbudde ekitongole ky’amagye ekirwanyisa envuba embi ekyeyongera okutimpula abavubi emigobante buli lukya nga n’omusolo ogwali guyimirizaawo eggombolola eno gwakendeerera ddala.
Wabula Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja mu bubaka bw’atisse Minisita wa Kampala, Hajati Minsa Kabanda agambye nti gavumenti egenda kukola ekisoboka okunogera eddagala ebizibu abakulembeze bye bamulombojjedde nga naye kimubuseeko okulaba nga pulogulaamu za gavumenti nyingi tezituuka ku bantu b’omu bizinga by’e Bussi.
Mukalazi Charlse Ssenkandwa ssentebe w’eggombolola y’e Bussi yasabye Minisita Kabanda okubagambira ku kitongole ekivunanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko ekya UWA ekikyalemeddwa okuvaayo okubataasa ku kizibu ky’envubu ezeeyongera okubattira abantu baabwe buli lukya.
Ssenkandwa agamba nti okuva mu muggalo gwa COVID 19 n’okutuuka olwa leero, abantu abakunukkiriza mu 100 be baakattibwa envubu wabula ng’ebbanga lyonna babaddenga beekubira enduulu eri aba UWA naye tebavangayo kubayamba.
John Ochenge okuva mu kitongole kya solargen yakakasizza nga bwe bagenda okutuusa amasannyalaze ku bantu 800 mu bbanga lya myezi 18 ate ku nsimbi entono ennyo.
Akulira abakozi mu district y’e Wakiso Alfred Malinga yagambye nti kati basuubira obuweereza okutambula obulungi mu by’obulamu ssaako eby’enjigiriza ebibadde bibasumbuwa.
Ppulojekiti eno ewomeddwamu omutwe munnansi w’eggwanga lya Canada Tonny Woodraugh nga ali wamu ne mikwano gye.