Bya Tonny Evans Ngabo
Akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso kawagidde ebbago eriri mu bubage nga lino ligendereddwamu okulaba nga Bannayuganda babeera n’eddembe ku mmere n’eby’okunywa erimanyiddwa nga Food and Nutritional Bill 2024.
Mu kiseera kino, omubaka wa palamenti oqa Kigulu South Milton Muwuma yatandika dda okwebuuza ku Bannayuganda ku tteeka erigendereddwamu okusitula omutindo gw’ebintu bannansi bye balya n’okunywa.
Shafic Kagimu okuva mu kitongole kya FIAN UGANDA ekirwanirira eddembe ly’emmere yasinzidde mu lutuula lw’akakiiko kano ku Kolping Hotel e Makerere Kavule n’ategeeza ng’eggwanga bwe liri mu kaseera akazibu olw’emmere Bannayuganda gye balya etatuukana na mutindo nga buli muntu akanya kulya kukkutta kyokka nga ebirungo ebiteekebwa mu by’okulya kkampuni ezikola eby’okulya tezifaayo kunnyonnyola bantu.
Ssaabaganzi Rebbecca Bukenya nga y’akulira obutondebwensi n’obugagga obwensibo mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti bagenda kwongera amaanyi mu kulondoola amakolero gonna agakola eby’okulya n’eby’okunywa okukakasa bye bakola oba ddala biri ku mutindo.
Wabula ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso, Elly Ksasirye wamu ne Hadijja Nansubuga munnamateeka okuva mu kitongole kya PSD basabye gavumenti kati okufuna abakugu basomese abantu ku ngeri gye bayinza okwekuumamu ssinga obuzibu bubagwira nga beesigama ku njega eyagwawo ssabiiti ewedde mu bitundu by’e Kigoogwa, ekimotoka ky’amafuta bwe kyakwata omuliro ogwaviirako abantu abali eyo mu 25 okuga nga n’abasembyeyo bafiiridde mu ddwaliro e Kiruddu.