Abasirikale mu Ggye Erikuuma Kabaka Beekubye Empeta

0 minutes, 48 seconds Read

 

Owek. Noah Kiyimba akubirizza abavubuka obutatya bufumbo ng’annyonnyola nti newankubadde wabaawo ebisoomooza mu bufumbo, bwe wabaawo omukwano omuggumivu wakati w’abagalana ebisigadde efuuka mboozi etayinza kulemesa baagalana.

Minisita Kiyimba okwogera bino yabadde akiikiridde Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’abasirikale mu ggye erikuuma Kabaka erya Kabaka Protection Unit (KPU), Kafeero David ne Namutebi Eva ogwabadde ku Namirembe Guest House.

Minisita Kiyimba mu kifaananyi n’abagole.

Minisita Kiyimba bano yabeebazizza olw’obuweereza bwe bakola mu Bwakabaka naddala ensonga enkulu ey’okukuuma Kabaka. Yabeebazizza olw’okusalawo ne bakola obufumbo obutukuvu okwawukanako n’abavubuka abatya obufumbo ensangi zino.

Yabasiribiridde entanda eri buli omu kwagaliza munne ekisinga obulungi, era beewale okugeerageranya obufumbo bwabwe ku bw’abalala wabula bakole ebyo ebiri mu busobozi bwabwe, baagalane, olwo obufumbo bubanyumire era buwangaale.

Abasirikale bano Kafeero David ne Namutebi Eva bamaze emyaka kumpi 12 nga baweereza mu ggye erikuuma Kabaka erya KPU.

Minisita Kiyimba ku kkono, n’abamu ku bannamagye abeetabye ku mbaga.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!