Bano bagamba nti kino kikolebwa abantu abalina emitima ebiryoryomi, abalina ekkobaane ery’okunafuya Buganda wadde mbu ng’ate kino tekiyinza kusoboka.
“Martha’s Killers Must Pay Dearly”, Says Seth Murari, Her Father
Ng’Abaganda ennaku ezisigaddeyo okutuuka ku mazaalibwa ga Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 70 egy’ekitiibwa bazibalira ku ngalo, abavubuka okuva mu Buganda nga bali wamu ne Bannankobazambogo balaze okutya okw’amanyi olw’ebigenda mu maaso mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu bye bagamba nti byandiba nga biliko abavujjirira n’ebigendererwa.
Kye basinze okusongamu olunwe ze mmaapu za Uganda ezikubiddwa mu byapa ezifulumizibwa ensnagi zino naye nga balaga Buganda ng’ekitundu ebiri mu Uganda nga kkwo ku mmaapu teriiko.

Bano bagamba nti kino kikolebwa abantu abalina emitima ebiryoryomi, abalina ekkobaane ery’okunafuya Buganda wadde mbu ng’ate kino tekiyinza kusoboka.
Binno byayogeddwa amyuka ssentebe wa Buganda Youth Council, Munnamateeka Derrick Kavuma bwe yabadde akulembeddemu okukyusa obukulembeze bwa Nkobazambogo ku ssetendekero wa University of Kisubi mu Ssaza lya Kabaka ery’e Busiro.

Nursery School Teacher Dumps Newborn Baby to Pit Latrine, Arrested
Adrian Lubyayi nga ye Ssentebe wa Nkobazambogo mu ggwanga yasabye abalondebwa mu bifo by’obukulembeze okutuukiriza obuvunanyizibwa obubaweebwa okusinga okulowooza nti bayambako buyambi ababawadde obuyinza.
Ssentebe wa district y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika yagambye nti waliwo okusomoozebwa okw’amanyi nti omulembe oguliwo gusanze obuzibu olw’okubulwa eky’okulabirako nga kati abantu awatali ssente mpaawo kye bakola.
Ssekalo Gordon Julius ye yalondeddwa ku bwa ssentebe wa Nkobazambogo ku University of Kisubi.

Learners Hold ‘African Union Summit’ Mock Debate to Address Mental, Emotional Issues