Okuva mu mbeera, kiddiridde okufuna amawulire ng’omuntu waabwe okwevumba akafubo ne ssentebe w’ekibiina mu disitulikiti, Hajji Haruna Ssemakula, amyuka RDC w’e Mukono, Hassan Kasibante n’eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Francis Lukooya Mukoome ng’ono naye avuganya ku kifo kye kimu.
Ng’ebula ssaawa busaawa okulonda kw’akamyufu ka NRM ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti mu Uganda yonna kugende mu maaso olunaku lw’enkya nga July 24, abawagizi b’omu ku bavuganya ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti y’e Mukono bagudde mu lukwe lw’okumuwaliriza okuva mu kalulu ne bataama okukirako enjuki enkubemu ejjinja.
Bano bawagizi ba Yusuf Awuye omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono ow’ekibiina kya NRM ng’avuganya ku kifo ky’anaakwatira NRM bendera ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti.
Okuva mu mbeera, kiddiridde okufuna amawulire ng’omuntu waabwe okwevumba akafubo ne ssentebe w’ekibiina mu disitulikiti, Hajji Haruna Ssemakula, amyuka RDC w’e Mukono, Hassan Kasibante n’eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Francis Lukooya Mukoome ng’ono naye avuganya ku kifo kye kimu.

Bano babadde batudde mu woofiisi y’amyuka RDC Kasibante ng’era oluvannyuma lw’amawulire gano okugwa mu matu g’abawagizi ba Awuye, basitukiddemu ng’eyatega ogw’ekyayi ne bamuyitayo nga ne nnabbugi si mufungize ne bamuteeka mu mmotoka ne bamubuzaawo.
Abawagizi bakulembeddwamu eyaliko kkansala ku disitulikiti, Davis Lukyamuzi ng’era bawuliddwa nga bagamba nti ke gwake, k’etonnye, Awuye alina okuvuganya mu kalulu ewatali kumuvuvuba.
“Mwagala kumujja mu kalulu olw’okuba si muganda? Tetugenda kukkiriza, muleke akalulu kasalewo. Eryo effuga bbi tetugenda kulikkiriza…,” ebyo bye bimu ku bigambo bano bye bawuliddwa nga balekaanira waggulu mu luggya lwa woofiisi ya RDC w’e Mukono.

Wadde nga bano bagenze mu maaso ne meetingi yaabwe, baludde ddaaki ne bavaayo naye tebakkirizza kwogerako na b’amawulire.
Guno si gwe mulundi ogusoose ssentebe wa NRM Hajji Ssemakula ng’agezaako okwogereza Awuye okuva mu kalulu ng’omulundi ogwasooka baali mu kulonda ku kifo kye yawangula eky’amyuka ssentebe wa NRM, nga Hajji yagezaako okumwogereza alekere Andrew Ssenyonga ekifo ekyo era abawagizi be baayingiramu ne bamulemeza mu lwokaano era akalulu n’akawangulira waggulu ddala.
Suspected Killers of Compassion International Boss Wayengera Charged, Remanded