Bino biyasanguziddwa meeya wa Kasangati TC, Tom Muwonge bw’abadde yeegasse ku bantu ba Kabaka mu ssaza ly’e Kyaddondo okukola bulungibwansi nga bano bagogodde ebifo ebibadde bigegedde ne babireka nga bitemagana.
BYA TONNY EVANS NGABO | KASANGATI | KYAGGWE TV |
Nga Bannakampala batandise okwemulugunya ku ngeri KCCA gy’esituddemu obukambwe ku bantu abamansa kasasiro n’okulinnya mu muddo n’ebimuli ebyasimbibwa okunyiriza ekibuga omuli okubakwata ne babatwala mu kkooti nga bangi babasindise ku meere e Luzira n’abamu ne babatanza ensimbi eziri eyo mu bukadde bubiri, ate bbo aba Kasangati ttawuni kkanso nabo basitudde enkundi, bano bagamba nti KCCA ky’ekola kirungi era nabo bagenda kutandika okukola kye kimu.
Abakulembeze b’e Kasangati bagamba nti bagenda kuvaayo n’etteeka erinaabalungamya ku butya bwe balina okukwatamu abantu abamala gamansamansa kasasiro, bakwatibwe baweebwe ebibonerezo ebikakali omuli okubatanza ensimbi n’okubasiba ng’eno y’engeri yokka ey’okuyamba ku bucaafu obususse mu Kasangati.
Stella Nyanzi Exposes Ailing Kampala Woman MP Shamim Malende Over Poor Representation
Bino biyasanguziddwa meeya wa Kasangati TC, Tom Muwonge bw’abadde yeegasse ku bantu ba Kabaka mu ssaza ly’e Kyaddondo okukola bulungibwansi nga bano bagogodde ebifo ebibadde bigegedde ne babireka nga bitemagana.
Mu bifo ebilongooseddwa mu kaweefube eyeetabiddwamu n’abayizi b’amasomero mulimu emyala, n’akatale akabadde tekakyasikiriza baguzi. Bulungibwansi ono y’omu ku nteekateeka ezikulembeddemu okukuza olunaku lw’eby’enjigiriza mu ssaza lya Beene ery’e Kyaddondo.
Meeya Muwonge ategeezeza nga bwe bateekateeka okuleeta etteeka erikwata abantu abamala gamansa kasasiro buli we basanze nga balina essuubi nti bwe banaatandika okubateekako omukono ogw’ekyuma, baakusobola okweddako olwo bamanye nti bali mu kibuga era batandike okweyisa nga bannakibuga.
Meeya Muwonge mu ngeri y’emu alaze obwennyamivu olw’abantu obuteefaako kuyonja bifo mwe bakolera naddala abatunda eby’okulya ky’agambye nti ne bano nabo bagenda kubasitukiramu nga bayita mu basawo b’eby’obulamu aba ttawuni kkanso.
Ate akulira eby’enjigiriz mu ssaza Kyaddondo, Asadu Kirabira agamba nti nga bwe basuubira okukuza olunaku lw’eby’enjigiriza mu ssaza ng’ennaku z’omwezi 16 April, ku Lwokusatu lwa ssabbiiti eno, baayagadde okujjukiza abantu ba Beene okubeera abayonjo buli kiseera nga tebalina kulinda muntu yenna kubajjukiza.
Bulungibwansi ono yeetabiddwamu n’abaana b’amasomero ag’enjawululo omuli pulayimale ne ssekendule.