Kibuule ng'ayogera n'abantu abaamulindiridde e Buligobe.

Agenda 2026: Kibuule Ayaniriziddwa nga Muzira mu Namawojjolo ne Walusubi

4 minutes, 23 seconds Read

Musa Muwanika yategeezezza nti Kibuule yali yabamanyiiza okubalambulangako nga ne bwe babeera n’eby’etaago nga bamukubirako oba okugenda ewuwe ne bamubimutegeeza kyokka ng’emyaka gino okuva lwe baamuggya mu palamenti, omubaka eyalondebwa tabasuuliranga ku mwoyo kugendako gye bali kufuna birowoozo byabwe.

Eyaliko omubaka wa palamenti owa Mukono North, Ronald Kibuule abantu bamulaze nti ebbanga ery’emyaka egigenda mw’etaano gy’amaze ng’ali bbali wa byabufuzi ddala bingi bye yaleka bitambula byadobonkana olw’obukulembeze obwamuddira mu bigere obutalina kyamaanyi kye bukoze ku by’etaago by’abantu ebingi ddala.

Mu katale k’e Namawojjolo, Kibuule era nga ye yali Minisita omubeezi ow’amazzi yatuseeyo abasuubuzi okuli abookya n’enkoko ssaako abo ababitambuza ku mmotoka ne bamusalako ne bamusaba abawe obudde bamulombojjere ebizibu bye bayiseemu emyaka gino etaano egy’ekisanja kino nga bagamba nti bbo kyabasala amagenda n’amadda kuba omubaka gwe baalonda tebamulabyeko wadde.

Kibuule ng’ayogera eri abantu b’e Walusubi abaakungaanye mu bungi okumuwuliriza.

Bano wadde nga Kibuule yabadde mu bwangu nga bamulindiridde e Wanjeyo n’e Walusubi n’atasobola kubawa budde bumala nga bwe baabadde bamusabye, yabasuubizza okubawa olwa Ssande eggya lw’anaddayo gye bali abawe obudde okufuna ebirowoozo byabwe.

Musa Muwanika yategeezezza nti Kibuule yali yabamanyiiza okubalambulangako nga ne bwe babeera n’eby’etaago nga bamukubirako oba okugenda ewuwe ne bamubimutegeeza kyokka ng’emyaka gino okuva lwe baamuggya mu palamenti, omubaka eyalondebwa tabasuuliranga ku mwoyo kugendako gye bali kufuna birowoozo byabwe.

Kibuule ng’ayita mu basuubuzi abookya enkoko mu katale e Namawojjolo.

“Eyo twakola nsombi era tetusuubira kuddamu kukola nsobi eyo mulundi mulala. Bye tuyiseemu ebbanga lino Bimala era tuboneredde, yali nsobi nnene okuggyawo Minisita ne tulonda omuntu atalina ky’ali, kale twamuwa alabika aliddeko, kati kye kiseera tuzzeeyo Kibuule atukolere n’okutusakira ng abwe yakolanga,” Muwanika bwe yategeezezza.

Kibuule yatandikidde ku ssomero lya Namawojjolo Church of Uganda P/S gye yasisinkanidde abantu ne bamwaniriza n’okumusuubiza obuwagizi ng abwe yavudde wano yeeyongeddeyo e Buligobe ng’ate eno yasanze abantu bangi ddala nga bamulindiridde.

Abatuuze e Walusubi mu ssanyu nga Kibuule ayogera gye bali.

Kibuule yabategeezezza nti ku bugenyi Pulezidenti Museveni bwe yabadde nabwo ku Ssande ewedde nga June 22, 2025 mu kkolero lya Global Paper e Mbalala mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, yasuubizza okwongera ku bungi bw’amakolero mu kitundu kino olwo omuwendo gw’abantu abakolerayo nagwo gusobole okweyongerako.

“Pulezidenti era yasuubizza nti agenda kwogerezeganya ne bayinvesita bano olwo abakozi abakolera mu makolero gaabwe batandike okubasasula ensimbi ez’omusaala ogwa buli mwezi bave ku za lejjalejja ze babadde babasasula nga kumpi zikola ku byansula ne kulya ne batasobola kubaako bye bazikolamu okwekulaakulanya.

Omuwagizi wa Kibuule ng’atema ddansi.

Ate yasuubizza n’okukola oluguudo oluva e Walusubi okugenda e Nama ne luyitamu ppaka Kisowera baluyiwe kkoolansi olwo bayinvesita bafune obwangu mu kutambuza eby’amaguzi byabwe baleme kukaluubirizibwa.

Ronald Kawooya, ssentebe w’e Walusubi yeetondedde Kibuule olw’ensobi abantu gye baakola ne bamuggya mu palamenti n’agamba nti okubonaabona kwe babonyeebonye kubamaze nga kati bafunye eky’okuyiga eyo ensobi tebagenda kuddamu kugikola.

Abasuubuzi mu katale e Namawojjolo nga basazeeko Kibuule bamunnyonnyola ensonga zaabwe.

“Tukwebaza nti watukolera omugga gwa Ssezzibwa ogwali gwanjaala abantu nga tebakyayita naye ate obuzibu bwaddamu, abatayagaliza bwe baagenda ne baguyiwamu kasasiro ne guddamu ne guzibikira. Munnaffe tonyiiga, tumanyi nti byonna gw’abisobola, tusaba ate oddemu ogutogogolere ng’ekiwundu tekinnayongera kusamba ddagala,” Kawooya bwe yategeezezza.

Kibuule era yasuubizza okuyamba ab’eno okutereeza ekizibu ky’amazzi ge yagambye nti yabayamba okugafuna aga ttaapu naye nti matono ate nga gavaavaako ekibakosa ennyo n’agamba nti waakulaba nga babagatta ku midumu eminene egiva e Katosi ku ssengejjero lya National Water olwo babeere nga bafuna amazzi agamala ate nga gabeerako buli kiseera.

Omusuubuzi mu katale k’e Namawojjolo ng’aliko by’akkaatiriza Kibuule.

Ono era yasuubizza n’okuteeka ensimbi mu bibiina naddala eby’abakyala nga waakiri buli kimu waakukiteekamu obukadde 10 ssaako okutandikira we yakoma ng’agaba enkoko n’embizzi eri abo abatali basiraamu.

“Abavuzi ba bodaboda ndowooza mmwe ate munzijukira, okuleka abatono be nnagulira pikipiki, nnagaba emipiira gya bodaboda egy’omunda ne kungulu naye bukyanga nvaawo, bwe mwalonda mpulira nti mubanoonya temubalaba…” bwe yategeezezza n’abasuubiza nti olunaamuzza mu palamenti ng’atandikira we yakoma.

Kibuule ng’ayita mu Walusubi nga bw’awuubira ku bantu.
Abantu b’e Walusubi nga baweddeyo okuwuliriza Kibuule.
Kibuule ng’ayogera n’abatuuze b’e Namawujjolo.
Vivian Kobusingye, mukulembeze w’abakyala mu ggombolola y’e Nama ng’afukamidde okusaba abantu okuwagira Kibuule bamulonde ne mu kamyufu nga July 16, 2025.
Kibuule ng’abinuka n’abantu b’e Namawojjolo abaasanyuse okumulabako.
Kibuule ng’ayogera n’abamu ku batuuze abaamulindidde ku ssomero lya Namawojjolo Church of Uganda P/S.
Abatuuze e Bulogobe nga baaniriza Kibuule.
Abasuubuzi abatunda eby’okulya eri abasaabaze nga banyumirwa mu kwaniriza Kibuule e Namawojjolo.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!