Jamada Kivumbi, akulira okulonda kwa NRM e Kayunga nga poliisi emuteeka mu kabangali yaayo emudduse ekibabu. Mu katono, ng'akaaba.

Akulira okulonda kwa NRM e Kayunga abalonzi bamuyisizzaamu empi n’akulukusa amaziga!

1 minute, 41 seconds Read

Ku kifo ky’omuwanika, Kivumbi takkiriza balonzi kulonda muwanika wa NRM n’alangirira gw’ayagala, abalonzi ne bataama okukirako enjuki enkubemu ejjinja era ono bamututte talinnya poliisi y’emutaasizza.

“Bukalango Will Not Die With Magembe, His Work Must Continue,” Archbishop Ssemogerere

Akulira okulonda kwa NRM e Kayunga Jamada Kivumbi amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lw’abalonzi okumupacca empi nga bamulanga kuvuluga kulonda kwabwe. Bino bibadde mu muluka gw’e Bukolooto mu Kayunga ttawuni kkanso.

Bano babadde bakedde kuddamu kulonda oluvannyuma lw’okulonda kuno okuyiika olunaku lw’eggulo kyokka bagenze okulaba ng’omukulu ali mu mivuyo gye gimu ne bamuyisaamu empi.

Wadde ng’ezziga ly’ekisajja liva wala, Kivumbi atonnyezezza amaziga nga tajjukira na kujjukira nti kkamera zimulaba nga kw’atadde okukolimira abo b’abadde asongamu olunwe nti be bamukubye. Wabula ne bano basigadde bamukongoola nga bagamba nti ebikolimo by’enkoko tebitta kamunye.

Jamada Kivumbi akulira okulonda kwa NRM e Kayunga ng’amaziga gamuyitamu ng’eno bwe bamusiisiitira asirike.

Mu kulonda okwasuze, Emmanuel eyabadde avuganya nga tafunyewo kalulu kyokka bwe kudiddwamu leero, ono talabise munne bwe baabadde bavuganya n’amuwangula.

Ku kifo ky’omuwanika, Kivumbi takkiriza balonzi kulonda muwanika wa NRM n’alangirira gw’ayagala, abalonzi ne bataama okukirako enjuki enkubemu ejjinja era ono bamututte talinnya poliisi y’emutaasizza.

Jamada Kivumbi akulira okulonda kwa NRM e Kayunga nga bimusobedde.

Kivumbi asoose kwewaga nti kale oba munkubye, naye kkwo okulonda tekugenda kusula era nga n’akataayi tekannasala, ategeezezza nti ku kifo ky’omuwanika, baabadde n’abavuganya babiri okuli Kaggwa Kasolo ne Nakabugo Ritah mbu wabula eby’embi, bwe beetegerezza, nga Nakabugo Ritah yabadde talina bisaanyizo bimukkiriza kwesimbawo kuba yabadde mulondesa.

Bwatyo, Kivumbi alangiridde omu abadde asigadde ku kifo ekyo nti ayiseemu era ekiddiridde be balonzi okutamuuka okukirako enjuki enkubemu ejjinja.

Abatuuze olukongoolo balutunuulizza ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Kayunga Moses Kalangwa gwe bagamba nti yandiba nga y’ali emabega w’emivuyo gino egitagenda kugatta ku kibiina wabula okwongera okukyabuluzaamu.

Kivumbi nga yeesogga kabangali ya poliisi okutaasa obulamu.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!