Amasasi Ganyoose Nga Poliisi N’amagye Bakwata Abasobye mu 80

1 minute, 35 seconds Read

BYA ABU BATUUSA | NANSANA | KYAGGWE TV | Poliisi y’e Nansana n’amagye bakubye amasasi mu bbanga nga bakwata abateberezebwa okubeera ababbi abatigomya ebitundu by’e Nansana n’emiriraano.

Ab’eby’okwerinda bano babadde baduumirwa omuduumizi wa poliisi Anthony Nsadha era nga basobodde okukwata abantu abasoba mu 80 okuva mu bitundu okuli Nabweru mu Kafunda, mu Kibuloka, ku ky’e Nabweru, Yesu Amala, Naluvule n’awalala.

Embeera eno eddiridde okukwatibwa kw’agambibwa okubeera omubbi ow’olulango  mu Nansana amanyiddwa ennyo nga Vibrator, ng’ono akwatiddwa wakati mu kavuvungano ak’amaanyi.

Abamu ku bakwate abasangiddwa nga batunda enjaga.

Kigambibwa nti ono aludde ng’anoonyerezebwa ku misango okuli obubbi, okukwata abakazi n’emirala, ng’okukwatibwa poliisi yamuguddeko mu bbaala ku Yesu Amala n’agezaako okulwanyisa abaserikale ekyavuddeko okukuba amasasi mu bbanga.

Ekikwekweto kitandikidde Nabweru mu Kafunda nga wano poliisi egobaganye n’abavubuka era ng’abamu basangiddwa n’enjaga n’ebiragalalagala ebirala. Waliwo ne be bagwikirizza mu kifulukwa nga beebase nabo poliisi n’ebayoola. Babakunganyirizza mu kiyumba era oluvanyuma ne bassibwako empingu ne babalinnyisa kabangali ne batwalibwa ku poliisi y’omu Lubigi.

Ekikwekweto kyeyongedde okuyinda ku Northern Bypass abakyala 2 ababadde batunda enjaga ne bakwatibwa nayo, n’ekiyumba ekiriraanye we babadde ne bakukunalayo enjaga endala, nga n’ebadde mu nnimiro nayo ekuuliddwa.

Ne bano bateekeddwa mu mmotooka ya ttakisi omu ku bakyala n’alaajana nti abadde mu kunoonya nsimbi zimutwala bweru kukuba kyeyo.

Abamu ku bakwate.

Mu Kibwa zone, abavubuka abasangiddwa mu kiyumba bateegezezza poliisi nti eno y’enfo mwe bateeseza n’okukola entegeka z’okulumba be bagenda okukolako obulumbaganyi. Nabo batikkiddwa ku kabangali ne bongerwayo.

E Naluvule, abavubuka olulabye aba poliisi amagulu ne gabeeyimirira wabula ng’omu ku bbo akwatiddwa. E  Kayunga ssaako ne ku Yesu Amala, abaabadde bazannya zzaala bangi ku bbo nabo tebaalutonze.

Agambibwa okuba omubbi ow’olulango eyakwatiddwa.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!