Bakaluba yakyukidde Gen. Katumba n’amutegeeza nti ddala Lukooya yakolaki Museveni, okumuleka n’avundira ku luguudo nga tamukookoonyezza wadde akalimu k’obwa RDC oba ambasada ate ng’obusobozi abulina bulungi!
Ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa awadde munywanyi we amagezi Francis Lukooya Mukoome, asitudde enkundi ng’agamba ayagala kumusiguukulula, nti ave mu kuloota nga yeebase kuba ye gwe yeerijjako tamuyita mazzi munywa!
Bakaluba mu ngeri ey’olusaago, yagambye nti Lukooya oluvannyuma lw’okukulembera disitulikiti y’e Mukono, yamukulembera n’amutwala e Nakifuma n’avuganya ku ky’obubaka bwa palamenti nga yali anoonya kusiguukulula mu kiseera ekyo eyali omubaka waayo, Ying. Robert Kafeero Ssekitooleko kyokka nti eno yagwirayo n’enkoona n’enywa!
Mbu teyakoma okwo, ate bwe yalaba kino tekimaze, n’asalawo okukyusaamu, ng’alowooza nti oba Mukono South, mu kiseera ekyo ewaali munna NRM, Johnson Muyanja Ssenyonga nti yeewaali ewangu ew’okuyitira naye nti nayo, munna kibiina kya DP, yamukubya kaga, okukkakkana ng’ali ku katebe emyaka kkumi bwe ddu.

Yategeezezza nti baali babaze nti olw’obukozi bwa Lukooya n’obuyigirize, omusajja owa ddiguli bbiri, nti ssinga yali agenze mu palamenti, oba oly’awo omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni yandimuwadde obwa minisita bwa gavumenti ez’ebitundu naye ebyo byonna tebyasoboka bwe yagwa enfunda ebbiri ze yagezaako okwesimba ku bubaka bwa palamenti.
“Ate nnali ndy’awo, nga kitawe mpulira nti akubye enkyukira, ate ayagala kuvuganya ku kifo kya bwa ssentebe bwa disitulikiti mwe yali n’asuulawo!” Bakaluba bwe yategeezezza. Okwogera bino, ono yabadde Namuganga ku kisaawe mu ggombolola y’e Seeta-Namuganga nga disitulikiti y’e Mukono ekuza olunaku lw’abakyala. Minisita w’emirimu n’eby’entambula, Gen. Edward Katumba Wamala ye yabadde omugenyi omukulu.
Bakaluba yakyukidde Gen. Katumba n’amutegeeza nti ddala Lukooya yakolaki Museveni, okumuleka n’avundira ku luguudo nga tamukookoonyezza wadde akalimu k’obwa RDC oba ambasada ate ng’obusobozi abulina bulungi!
“Kale kati naawe Genero Katumba, nga bwe wakwata ku Ying. Kafeero Ssekitooleko n’amutwala n’omuwa omulimu mu kitongole ky’eggaali y’omukka, lwaki ne Lukooya tomukwatako naye n’obeerako n’akalimu k’omufunira?” bwe yabuuzizza.
Yagambye nti kati okujja okuvuganya ye (Bakaluba), Lukooya yandiba nga musajja wattu yeetega kulaba oba Museveni amulengera wadde nga bikyagaanye.
Kyokka ono yamuwadde amagezi obutageza kugwa mu mabanja ng’atunda obubwe ng’amwerijjako kuba tebijja kumugendera bulungi!
Wabula ono olw’atedde akazindaalo Lukooya n’akata, yamubuuzizza oba nga bw’amulabye alabika ng’eyasuze enjala?
“Ssebo mu NRM wavaayo n’agenda mu bye ssitegeera, kati ate gy’otasula gy’oyagala okugerekera ebibya? Musajja wattu tomanyi na mulimu gwe nkola mu gavumenti! Bambi, ye kati ggwe atakyayinza na kubaako w’osisinkana Museveni kumuwuubirako waakiri obuwuubizi, kati ate oyinza otya okunsabira omulimu?” bwe yamubuuzizza.

Lukooya yategeezezza nti ebbanga lye yamala ng’omukulembeze, aliko omukululo gwe yalekawo ne Bakaluba gw’atannasobola kukola, kuba mu buli ggombololoa alina ky’asobola okumusongerako nga kiwandiikiddwako erinnya Francis Lukooya Mukoome nga kino si bwe kiri kuba ye Bakaluba mbu waliwo n’ebimu ku byalo mu magombolola mu disitulikiti mw’amaze emyaka kumpi etaano nga tebamulabangako!
Wabula amyuka RDC w’e Mukono, Hassan Kasibante yategeezezza nti ababiri bano Bakaluba ne Lukooya bwa mukwano nga ssinga batuula ne boogerezeganya, osanga bandisobodde okwetaggulula buli omu n’abeerako ekifo ky’agendako disitulikiti n’etafiirwako omu nga bwe gugenda okubeera ssinga basigala ku kifo kye kimu. Bakaluba yava mu kibiina kya NRM era kati wa NUP sso nga ye Lukooya akyali wa NRM kakongoliro.
