Obwedda bayoola kasasiro gwe baasanze mu kifo ekitasaana nga bano baalongosezza ne ku muzikiti gw’e Kyebando kubanga obuyonjo bwe beetaaga mu kitundu.
Family Fails to Trace Remains of Mbale DSC Commission Boss Who Perished in YY Bus Fatal Accident
Bya Abu Batuusa | Kyebando | Kyaggwe TV | Oluvanyuma lw’enkuba okufuddemba mu nnaku zino kireetedde abantu okweraliikirala nti wandibalukawo endwadde eziva mu bukyafu.
Kino kireetedde abamu ku bakulembeze nga beegatidde wamu n’abavubuka okukola bulungibwansi okulaba oba baneetaasa ekiyinza okubatuukako, bano balongoosezza ekitundu kye Bujuuko ne Kyebando bbo kye batuumye “Thursday 1km General Cleaning”.
Abakulembezze bano bakulembeddwamu Tony Kabuye, Paul Lubuuya awamu n’abavubuka abalala basazeewo okwetaba mu kulongosa ebitundu okuli Bujuuko ne Kyebando mu nkola ey’okulaba nga balwanyisa obulwadde obuva mu bukyafu.
Bano basangiddwa mu ttawuni y’e Kyebando naye ng’omulimu guno baagutandikidde Bujuuko nga bagamba nti kino tebagenda kukikomya wano kubanga enkuba tetonnya mu kitundu kimu nga bagenda kukitambuza okwetoolola eggombolola ya Wakiso-Mumyuka.
Obwedda bayoola kasasiro gwe baasanze mu kifo ekitasaana nga bano baalongosezza ne ku muzikiti gw’e Kyebando kubanga obuyonjo bwe beetaaga mu kitundu.
Mu kwogerako ne Tonny Kabuye nga ono ye yakulembeddemu omulimu guno yatuteegezezza nga nti bavuddeyo mu kaseera kano ak’enkuba kwe kusalawo okulongoosa n’okukuuma eby’obuyonjo.
Kabuye yagambye nti baasobodde okulonda obuveera kubanga bwe buviirako obulwadde n’akubiriza abantu okukunganya kasasiro naddala abo abakola mu by’okulya gamba ng’abaddukanya ebirabo by’emmere n’ebirala.
Ate ye Paul Lubuuya yasabye abantu okwongeramu amaanyi mu by’obuyonjo naddala okukungaanya obuveera kisobozese amazzi g’enkuba okutambula obutayingira mu mayumba ga bantu ng’enkuba etonnye.
Abalala abeetabye mu kulongoosa ye Emmanuel Nsubuga ne Isaaya Luwaga nga nabo baalaze obukulu bw’okukola bulungibwansi wadde nga baalaze okunyolwa olw’okuba nti ensangi zino abantu tebakyefiirayo ekiviiriddeko ebizibu ng’enkuba okunonnya emyala ne janjaala n’okutuuka okutwaliramu abantu.