Eyali kkalaani wa kkooti ya Buganda eya Kisekwa Milly Naluwemba yeggyeeredde, omuwaabi wa gavumenti mu musango gw’okutta eyali omukulu w’ekika ky’Endiga Eng. Daniel Bbosa, bw’amuggyeko omusango. Naluwemba (46) ayimbuddwa mu kiseera nga bbo banne bwe babadde bavunaanibwa basindikiddwa mu kkooti enkulu okuwerennemba n’omusango gw’okutemula Ying. Bbosa. Naluwemba abadde avunaanibwa ne Noah Luggya (21) agambibwa nti […]
Eyali omusomi w’ebirango ow’erinnya ku mikutu gya leediyo ez’enjawulo okuli Leediyo Uganda, CBS ne Super FM, kati omugenzi Ssaalongo John Ssekandi Lukoda Katalikabbe abadde omutaka ku kyalo Nabuti mu kibuga Mukono, ku lunaku lwa bbalaza Mukama yamujjuludde okuva mu bulamu bw’ensi eno. Ssaalongo John yaguddee mu kinaabiro n’amenyeka eggumba ly’ekisambi, n’addusibwa mu ddwaaliro e Naggalama, […]
Omuvubuka akozesa omutimbagano gwa Tiktok, Henry Nyanzi akwatiddwa n’aggalirwa ng’ogumulangibwa gwa kuvuma n’okuvvoola eyali Minisita omubeezi ow’amazzi era eyali omubaka wa palamenti owa Mukono North, Ronald Kibuule. Nyanzi nga ku Tiktok akozesa akawunti eri mu mannya ga Henric Brown ye yakwatiddwa n’aggalirwa ku poliisi e Mukono. Emboozi ya Ssaalongo John, Eyali Omusomi W’ebirango ku Leediyo […]
Oluvannyuma lw’okutuva ku maaso olwa leero ku Mmande nga October 21, 2021, enteekateeka z’okukungubaga n’okuziika Ssaalongo John Ssekandi zifulumye. Omulambo gwa Ssaalongo John akawungeezi ka leero gugyiddwa mu ddwaliro ne gukomezebwawo mu maka ge e Nabuti mu kibuga ky’e Mukono gy’agenda okusula ng’abantu okuli ab’oluganda, emikwano bamukungubagira. Emboozi ya Ssaalongo John, Eyali Omusomi W’ebirango ku […]
Olunaku lwa leero nga October 21, 2024, eggwanga lyaguddemu encukwe oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omusomi w’ebirango kayingo, Ssaalongo John Ssekandi Katalikabbe, ng’ono ebirango yabisomera ku Leediyo Uganda, CBS ne Super FM. Ssaalongo John yazaalibwa June 24, 1934, nga mwana nzaalwa y’e Nabuti mu kibuga Mukono. Ono mutabani wa Yosam Ssettubakkadde ne Miriam Nansubuga ng’era […]
Amawulire ga nnaku oluvannyuma lw’eyaliko omukozi ku Leediyo y’Obwakabaka CBS mu myaka gy’e 90, Ssaalongo John Ssekandi okuva mu bulamu bw’ensi eno. Ssaalongo John ng’abasinga bwe babadde bamumanyi yayatiikirira nnyo olw’engeri gye yasomangamu ebirango ku CBS. Ono amaze akabanga ng’olumbe lumubala embiriizi nga Katonda amujjuludde olwaleero. Ssaalongo John mutuuze w’e Mukono e Nabuti n’e Bunankanda […]
Bya Wilberforce Kawere Ab’eby’obulamu n’abakwasisa amateeka mu munisipaali y’e Mukono bagadde bbizinensi eziwerako mu zone ya Kikooza mu Mukono Central Divizoni olw’abaziddukanya obutaba na kaabuyonjo bbo ne bakkasitoma baabwe mwe beeyambira. Bbizinensi ezigaddwa zisoba mu 20 okuli ebirabo by’emmere, ebbaala ez’enjawulo, emidaala gy’ennyama y’embizzi, amadduuka agatunda eby’okulya n’okunywa n’endala nga zino zaasangibwa ku luguudo lwa […]
Kkooti y’amagye e Makindye yayongezzaayo okusaba kw’okweyimirirwa okwateekebwayo bannakibiina kya NUP Agaba Anthony amanyiddwa ennyo nga Bobi Young n’e Achileo Kivumbi ng’ono ye yali omukuumi w’akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine. Bobi Young ne Achileo okusaba kwabwe kwayongezeddwayo okutuusa nga October 21, 2024. Bano bavunaanibwa emisango egyekuusa ku kusangibwa n’ebintu […]
Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamateeka mu ggwanga ki Uganda Law Society, Isaac Ssemakadde emirimu agitandikidde mu ggiya nnene. Ssemakadde yagobye Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka ne ‘Solicitor General’, Francis Atoke ku lukiiko lw’ekibiina kino wamu n’ababakiikirira. Okusinziira ku bbaluwa gye yafulumizza akawungeezi k’eggulo ku Mmande, Ssemakadde alumiriza Kiryowa Kiwanuka okufutyanka akalulu k’Obwa pulezidenti bw’ekibiina kino (ULS) […]
Kitalo! Bp. Samuel Balagadde Ssekkadde Afudde!!! Ekikangabwa kibuutikidde ekkanisa ya Uganda oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omulabirizi w’e Namirembe eyawummula, Samuel Balagadde Ssekkadde. Bp. Ssekkadde afudde lwaggulo lwa leero nga October 14, 2024. Kitegereekese nga musajja wa Katonda afiiridde mu ddwaliro e Kisubi. Bp. Ssekkadde yali mulabirizi w’e Namirembe wakati w’omwaka 1994 okutuuka mu 2009.
