Bp. Bbanja Asitukidde mu Gavumenti ku Bubbi Bw’ettaka Okufuuse Ekigenge Ekitawona

BYA TONNY EVANS NGABO KIRA | KYAGGWE TV | Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe kitaffe mu Katonda Moses Banja mwenyamivu olw’emivuyo egigenda mu maaso mu Minisitule y’eby’ettaka mu ggwanga ng’agamba nti gino gye giviiriddeko ekibba ttaka okwongera okwegiriisa ng’ekigotta entula. Bp. Banja agamba nti egimu ku mivuyo egikudde ejjembe kwe kufulumya ebyapa ebisoba mu kimu ku […]

Embeera ya Dr. Kkonde Eyatemeddwa Ab’ebijambiya Ekyayungula Amaziga-Abasawo Bakyagaanye Aba Ffamire Okumulabako

NAKASERO | KYAGGWE TV | Embeera y’akulira eby’obulamu mu munisipaali y’e Mukono, Dr. Anthony Kkonde eyateegeddwa abazigu ab’ebijambiya ne bamuteka ekyayungula amaziga oluvannyuma lw’okulongoosebwa omutwe ku Lwokuna kyokka abasawo n’okutuuka olwaleero tebakkiriza muntu yenna wadde ow’oluganda lwe okumulabako. Kyaggwe TV ekitegeddeko nti Dr. Kkonde yalongooseddwa ku ddwaliro ly’e Nakasero ng’oluvannyuma lw’okuva mu theatre, abasawo baamututte […]

Aba South Korea Baakuzimba Essengejjero Lya Kazambi e Wakiso lya Buwumbi 10

BYA TONNY EVANS NGABO WAKISO | KYAGGWE TV | Disitulikiti y’e Wakiso emalirizza enteekateeka z’okuzimba ekifo ewagenda okulongoosebwa kazambi e Namulonge mu divizoni y’e Busukuma mu munisipali y’e Nansana. Okusinziira ku bakulembeze, essengejjero lya kazimbi lino lyakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi obusoba mu 10. Minisitule y’eby’amazzi n’obutondebwensi mu ggwanga bw’ebadde mu nsisinkano n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Wakiso […]

Abatemu Bateeze Dr. Kkonde ne Bamutema ku Mutwe-Yeetaaga Ssaala!!!

MUKONO | KYAGGWE TV | Embeera y’akulira eby’obulamu mu munisipaali y’e Mukono, Dr. Anthony Kkonde mbi oluvannyuma lw’okuteegebwa abazigu abaamutemye n’okumukuba ku mutwe mu kiro ekikeesezza olwaleero ku Lwokuna. Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okuba ng’ewaka we waliwo emirimu egikolebwa nga yabadde tasobola kusuzaawo mmotoka, yawaliriziddwa okugitwala ku Jobiah Hotel n’agireka eyo olwo n’atambuza ebigere okudda ewaka, […]

Ab’e Kira Bambalidde Ekitongole kya KCCA ku Nsonga Y’ettaka Ly’e Menvu ne Limbo y’e Bukasa Eyajjula

BYA TONNY EVANS NGABO | KIRA | KYAGGWE TV | Ng’abakulembeze ab’okuntikko mu kitongole ekivunanyizibwa ku kibuga ekikulu Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) bakyaboyaana n’ekizibu kya kasasiro oluvanyuma lw’enjega eyagwawo mu bitundu by’e Kiteezi eyaviriddeko abantu abasoba mu 25 okulugulamu obulamu, abakulembeze ba munisipaali y’e Kira bambalidde bannaabwe aba KCCA nga babalanga okubasibako […]

Ebbula Ly’amazzi Lyeyongedde Olw’obutonde Bw’ensi Obususse Okwonoonebwa

BYA TONNY EVANS NGABO | KAMPALA | KYAGGWE TV | Minisitule y’amazzi n’obutondebwensi mu ggwanga eri mu kattu olw’ekizibu ky’ebbbula ly’amazzi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga kino kisinga kukosa bakyala n’abaana. Mu kadde kano, minisitule ekola bwezizingirire okulaba nga ekizibu kino kigonjoolwa. Okusinziira ku bibalo, Banayuganda abawerera ddala obukadde 12 abawangaalira mu byalo nga bakola […]

RDC w’e Buvuma Birungi Asimattuse Akabenje

Omubaka wa gavumenti atuula mu disitulikiti y’e Buvuma Jacqueline Birungi Kobusingye asimattuse akabenje. Okusinziira ku beerabideko n’agaabwe, RDC Birungi abadde ava ku woofiisi ye esangibwa e Kitamiiro ng’ayolekedde e Kirongo ku mwalo okulinnya ekidyeri okuva e Buvuma. Amyuka RDC w’e Buvuma Patrick Mubiru akakasizza nga ddala mukamaawe bw’asimattuse akabenje kano nga kagudde ku kyalo Busamuzi mu […]

Minisita Babalanda Awadde Abakyala b’omukatale e Mukono Ensimbi

| MUKONO | KYAGGWE TV | Ensimbi obukadde bubiri ze zaakwasiddwa abakulembeze b’abakyala b’akatale ka Kame Valley e Mukono okusobola okubayambako okwekulaakulanya. Ng’abakwasa ensimbi zino, RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka yategeezezza nti zino zaabaweereddwa Minisita atwala ensonga z’amaka g’obwa pulezidenti, Milly Babirye Babalanda nga yazibasuubiza gye buvuddeko bwe baakola omukolo ne bamuyita ng’omugenyi […]

Gavumenti Eddizza Radio ya Kabaka Eya CBS Layisinsi Eyali Yagiggyibwako

Kyaddaaki gavumenti eddizza Radio ya Kabaka CBS layisinsi yaayo gye yali yayimiriza emyaka mingi egiyise okuva mu mwaka gwa 2009. Minister w’eby’amawulire ne ICT, Chris Baryomusi y’akwasizza Ssenkulu wa CBS Michael Kawooya Mwebe lalyisinsi eno. Omukolo guno gubadde ku kitebe kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya ekya UCC ekisangibwa e Bugoloobi mu kibuga Kampala. Radio ya […]

Nambooze Ayambalidde Munnamateeka wa NUP George Musisi, Kkaadi z’ekibiina zibizadde!

Oluvannyuma lw’ebbanga nga Munanmateeka w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) amakanda agasimbye mu kibuga ky’e Mukono gy’agambibwa nti ali mu kunoonya bululu okusiguukulula omubaka Betty Nambooze ku kifo ky’obubaka bwa palamenti, kyaddaaki Nambooze avuddemu omwasi. Nambooze okuvaamu ekigambo kiddiridde Musisi okumalako wiikendi ng’atalaaga ebitundu eby’enjawulo mu divizoni y’e Goma ng’agaba kkaadi z’ekibiina ki NUP ku […]

error: Content is protected !!