BYA TONNY EVANS NGABO | KYAGGWE TV | MENDE-WAKISO | Ng’eggwanga likyali mu mwezi gw’okwefumiitiriza wamu n’okumanyisibwa ku kirwadde kya kkookolo (cancer), gavumenti ne Minisitule y’eby’obulamu bisabiddwa okulowooza ku nsonga y’okugayiza obuweereza ku bujjanjabi bw’ekirwadde kino eky’eyongedde okuwanika amatanga mu Bannayuganda ensangi zino. Okusinziira ku bibalo, we twogerera nga Bannayuganda abawerera ddala 33,000 be bazuulibwamu obulwadde […]
| KYAGGWE TV | MMENGO | Abaganda baagera nti “akiika embuga amanya ensonga.” Na bwe kityo, Bannakyaggwe abasibuka mu ssaza ly’e Kyaggwe, Bannabuddu abava e Buddu ne Bannakyaddondwa ab’e Kyaddondo baakiise embuga ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda ku Bulange e Mmengo ne batwala oluwalo. Bano bavuddemu omugatte gwa ssiringi za Uganda obukadde 35 […]
BYA TONNY EVANS NGABO | KYAGGWE TV | WAKISO | Bannamwandu mu disitulikiti y’e Wakiso balaze enyiike gye bayitamu olw’abantu naddala ab’enganda za babbaabwe ababakkakkanako ne babatulugunya omuli n’okubagoba mu maka gaabwe amangu ddala nga baakafiirwa babbaabwe. Bano bagamba nti oluusi n’abaana babeefuulira ne babagoba mu by’obugagga bye baba baakolera ne babbaabwe nga bakyali balamu […]
BYA ABU BATUUSA | KYAGGWE TV | NANSANA | Abantu be Nansana mu Lubigi NEMA be yasendedde amayumba n’okwonoonera ebintu ng’ebalanga kwesenza mu Lutobazzi bafunye ku buweerero ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) David Lewis Lubongoya bw’abakubyeko obuyambi bw’emmere. Abantu bano okubadde abakadde n’abaana babadde bamaze ennaku nga balaajana eri abazirakisa nga basaba okudduukirirwa […]
| KYAGGWE TV | MUBENDE | Abakozi ku ssundiro ly’amafuta baaguddemu ekikangabwa mukama waabwe bwe yavudde mu buntu n’akwata emmundu ne yeekuba essasi eryamuttiddewo. Entiisa eno yagudde ku ssundiro ly’amafuta li Oil Energy ku kyalo Kisekende mu disitulikiti y’e Mubende, Allan Okello bwe yeekubye essasi mu mutwe n’afiirawo. Okusinziira ku bakozi banne, baategeezezza nti […]
Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo atongozza bboodi empya eya bbanka y’obulabirizi bw’e Mukono eya Mukono Diocese SACCO (MUDISACCO). Bp. Kagodo abakulembeze abaggya abalondeddwa abakunze okubeera abeerufu, abaayiiya era abeetefu okugatta omutindo ku bbanka eno okuyita mu kuteekawo engeri ez’enjawulo ezinaasikiriza Abkulisitaayo mu bulabirizi okugyegattako batandike okutereka n’okwewola ensimbi, bakole basobole okukulaakulana. Bannakibiina kya […]
| KYAGGWE TV | KAMPALA | Pr. Aloysius Bugingo, kabiitewe Susan Makula n’abagoberezi be aba House of Prayer Ministries ennaku gye balina tegambibwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti ddiguli omukulu gye yafuna oluvannyuma lw’okukuba emisomo gy’obukulu oluku mu mutwe, ate Minisitule y’eby’enjigiriza ng’eyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’enjigiriza mu matendekero aga waggulu ekya National Council for […]
| KYAGGWE TV | MUKONO | Ng’ensonga y’obwerufu eteereddwa ku mwanjo ensangi zino naddala ku ludda olw’ababaka ba palamenti abagambibwa okuba nti eby’okuteeseza abalonzi n’okuyisa amateeka baabivaako kati bakozesa palamenti kwegabanya musimbi, bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) e Mukono bakunguzza ensonga z’omubaka w’ekibuga ky’e Mukono mu palamenti, Betty Nambooze Bakireke ne bazikuba mu woofiisi […]
| KYGAGGWE TV | LUGAZI | Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Vvumba ekisangibwa mu munisipaali y’e Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe abazigu bwe basse abantu babiri ng’omu ku bano y’abadde ssentebe waabwe ow’ekyalo. Ssentebe ye Moses Boogere ng’atemuddwa n’omutuuze omulala ategeerekeseeko erya Buwembo nga bano olumaze okubatta abatemu ne bakuuliita ne ppiki ppiki zaabwe kwe […]
| KYAGGWE | MUKONO | Abatuuze ababadde beetegekera akabaga k’amazaalibwa baguddemu encukwe omu ku baana bw’awambiddwa omutemu n’amutungulamu amaaso oluvannyuma n’amutemako omutwe! Entiisa eno egudde ku kyalo Ttakajjunge ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono. Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo kino, Balaba Mugarura, omwana eyatemuddwa mu bukambwe ye Rina Nantongo muwala wa […]
