BYA TONNY EVANS NGABO NANSANA | KYAGGWE TV | Omulangira wa Klezia, Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemwogerere alaze okutya n’okunyolwa olw’ebikolwa ebikuumira abantu ku bunkenke ebyogera mu ggwanga buli lukya. Ssaabasumba agamba nti abantu mu ggwanga basusse okuliisa bannaabwe akakanja ne bababuzaako obwekyusizo nga buli kadde babakuumira ku bunkenke. Okwogera bino, Ssaabasumba abadde […]
Waliwo bakiggala abakoze embaga emenye n’ebidaala e Kigunga mu kibuga ky’e Mukono. Embaga eno ebadde ku kkanisa ya Kiyunga SDA e Mukono ng’esombodde abantu ab’enjawulo ababadde batakikkiriza nti ekirema aboogera, abatoyogera bakiggala bakisobola. Shariya Nalule agattiddwa ne mwana munne Ronald Kakinda ng’omukolo gw’okubagatta gubadde ku kkanisa ya Kigunga SDA esangibwa ku kyalo Kigunga mu divizoni […]
BYA TONNY EVANS NGABO KIRA | KYAGGWE TV | Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe kitaffe mu Katonda Moses Banja mwenyamivu olw’emivuyo egigenda mu maaso mu Minisitule y’eby’ettaka mu ggwanga ng’agamba nti gino gye giviiriddeko ekibba ttaka okwongera okwegiriisa ng’ekigotta entula. Bp. Banja agamba nti egimu ku mivuyo egikudde ejjembe kwe kufulumya ebyapa ebisoba mu kimu ku […]
BYA TONNY EVANS NGABO NAMUGONGO | KYAGGWE TV | Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogere asaasidde abantu abaafiiriddwa abantu baabwe kasisiro w’e Kiteezi be yabuutikidde ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ate ne bafa n’ebintu ebiwerera ddala ne bitokomoka. Ssaabasumba okwogera bino yasinzidde mu kitambiro kya mmissa ekyabaddemu okukuza olunaku lw’abaana Bannakizito mu […]
BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Enteekateeka z’okudduka emisinde mubuna byalo egitegekeddwa ekigo kya St. Jude ziwedde nga gyakubeerawo ku Lwomukaaga lwa wiiki eno nga August 3, 2024. Emisinde gino gigendereddwamu okusonda ensimbi ez’okuzimba Klezia empya ng’omulimu guno gugenda kutwala ebbanga lya myaka esatu nga gutojjera. Bwanamukulu wa St. Jude Catholic […]
| KYAGGWE TV | KAMPALA | Pr. Aloysius Bugingo, kabiitewe Susan Makula n’abagoberezi be aba House of Prayer Ministries ennaku gye balina tegambibwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti ddiguli omukulu gye yafuna oluvannyuma lw’okukuba emisomo gy’obukulu oluku mu mutwe, ate Minisitule y’eby’enjigiriza ng’eyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’enjigiriza mu matendekero aga waggulu ekya National Council for […]
BYA KYAGGWE TV | MUKONO | Kkwaya z’Abadiventi ez’enjawulo okuli n’evudde mu Austria zikungaanidde ku kitebe ky’obulabirizi bwa East Buganda obwakatongozebwa mu kukuza olunaku lw’okuyimba mu bulabirizi muno. Bano bakungaanidde ku kkanisa ya Mukono Central SDA Church esangibwa mu kibuga Mukono mu kusinza kwa ssabbiiti. Kkwaya zino ziyimbye ennyimba ez’enjawulo ezitendereza omutonzi nga Wave Choir […]
BYA TONNY EVANS NGABO Omuwendo gw’abalamazi abakyakonkomalidde ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo gugkyali munene wadde ng’emikolo egy’okulamaga gyakomekkerezeddwa olunaku lw’eggulo ku Mmande nga June 3, 2024. We bwakeredde ku Lwokubiri ku makya, ng’abakulira ekifo kino bakola butaweera okulaba nga abantu bano baddayo mu byalo byabwe gye byavudde. Kyaggwe TV yakitegeddeko nti abamu ku balamazi bano […]
Olulimi Oluganda lusomeddwa mu Kkanisa ya St. Paul’s Cathedral e London ng’olulimi lwa Africa olusookedde ddala okuva ensi lwe yatandikawo. Eggulo nga 2 Ssebaaseka (June) 2024, Ekkanisa eyo waggulu yategese okusaba okwabaddemu okusoma ekitundu mu lulimi Oluganda nga kiva mu Bakolinso eky’okubiri 4: 5-12. Kyasomeddwa Omuky. Jennifer Muwonge muwala w’Omubuze Muwonge Samuel Wamala eyali Munnakibiina […]
BYA TONNY EVANS NGABO Ng’ebula ssaawa busaawa okutuuka ku lunaku mulindwa olwa June 3, olw’okulamaga ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugongo, ekkanisa ya Uganda ekyetaaga ensimbi eziwerera ddala obukadde 600 okusobola okumaliriza buli kimu ekyetaagisa mu kaweefube w’okuteekateeka emukolo gy’okulamaga. Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku kijjukizo ky’Abajulizi Abakulisitaayo e Namugongo, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr Stephen […]