BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Gavumenti ekakasiza nga bw’egenda okwongera amaanyi mu kutumbula eby’emizannyo naddala emisinde, okusamba emipiira, okubaka, volleyball n’ebirala. Okuvaayo kiddiridde Munnauganda Joshua Cheptegei okuteeka bendera ya Uganda ku mmaapu bwe yawangudde omudaali gwa Zaabu mu kutolontoka embiro empanvu eza mmita omutwalo mu mizannyo gya Olympics egiyindira e Bufalansa. […]
Amasaza ag’enjawulo gakyagenda mu maaso n’okweriisa enkuuli mu mupiira gw’amasaza 2024 sso ng’ate n’ezikyavuya nazo nnyingi. Erimu ku gakyavuya y’e ttiimu y’essaza ly’e Buddu ng’eno ne gye buli eno ekyavuya. Bannabuddu bakubiddwa essaza ly’e Bugerere ku ggoolo 1-0 nga babadde ku bugenyi. Ng’eno ssande ya kusatu bukyanga empaka z’omwaka guno ziggyibwako akawuuwo, ne bannantameggwa b’ekikopo […]
| MUKONO | KYAGGWE TV | Amasomero Ageetabye mu Zookusunsulamu Ezinaakiikirira Uganda mu za East Africa Beemulugunyizza ku bacuba RESULTS: Amuka p/s Lira 2-5 St. Mary’s Mbarara Mukono Junior School 0-0 Seeta Junior Rays of Grace 3-0 Global Junior School Mukono Mukono Junior School 4 – 0 Amuka P/S Buliigo P/s Iganga 0-1 St. Mary’s […]
AGAFA MU NKAMBI Y’ESSAZA LY’E KYAGGWE – THE BUKUNJA WARRIORS Essaza ly’e Kyaggwe limaze okuyungula ttiimu kabiriiti okwanganga amasaza amalala mu mpaka z’omupiira ogw’amasaza ezinaatera okuggyibwako akawuuwo. Mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri, abazannyi ba ttiimu eno amanyiddwa nga Bukunja Warriors abazannyi baayo bonna baatadde omukono ku ndagaano ezigenda okubafuga mu mpaka zino ssizoni eno. Ebitonotono […]