Ebizibu ebirala abatuuze bye baalombojjedde Kibuule mulimu amakubo amabi, amasannyalaze ng’ebyalo gye yatuusa amasannyalaze ebbanga we yabeerera omubaka na buli kati tegatambulanga kweyongerayo emyaka etaano nga balina essuubi nti oluvannyuma lw’okumuzza mu palamenti, amasannyalaze gagenda kuddamu okutambula. Eyaliko omubaka wa Mukono North, Ronald Kibuule nga mu kiseera kino afunvubidde okulaba butya bw’amatiza abalonzi okumuzza mu […]
“Kyewuunyisa nnyo okulaba nga Nambooze ku birungi by’afunye mu gavumenti ya NRM ekulemberwa Pulezidenti Museveni ng’akyasobola okuvaayo n’ayimirira ku kadaala n’avuma Museveni nga bw’akola nga takwatiddwa wadde ku nsonyi,” Speaker Among bwe yagambye. Sipiika wa Palamenti, Nnaalongo Annet Anita Among yakawangamudde bwe yategeezezza wakati mu lujjudde lw’abantu era mu maaso ga Pulezidenti Museveni nti lwa […]
Embiranye eno okusinga eri mu ttawuni kkanso y’e Lyabaana ku mwalo gw’e Muwama ng’eno eriyo abatuuze babiri abatulaze ebisago ebyabatuusibwako bannaabwe aba NUP okuli n’omu gwe baaluma ekigalo ekisajja okubula okukikutulako ng’ono ye Sarah Kafuko ne munne Jane Matinyi. Ng’okunoonya obululu mu nkambi z’abavuganya ab’enjawulo kwongera kubeeramu bbugumu olw’ennaku z’okulonda ezongedde okusembera, yo mu bizinga […]
“Kya nnaku nnyo nti bannaffe bano bbo tebaatunuulidde kutwala mu maaso kibiina, baalimiridde n’okugulirira ne basuula ate bakkansala abandibadde ab’amaanyi, olwo ne baddira kkaadi za NUP ne ziweebwa abantu ab’ekibogwe. Kino kikyamu!” Nambooze bwe yategeezezza. Munna NUP Kyembuga Florence K’abala ku Munna NRM Haji Ssemakula Kaliibwa! Oluvanyuma lwa kkaadi za NUP okujjamu emigozoobano, bangi ku […]
Kyembuga avuganya ku kifo eky’obwa kkansala ggombolola erimu mu kkonsituwensi ya Mukono South ng’ayagala kukomawo ku disitulikiti gy’abadde ku kkaadi ya DP. Lukooya, Over 50 Others Nominated for Mukono District Local Gov’t Positions Nga banna NUP ba kakongoliro (Ffuutu Ssooja) bakaaba olw’okummibwa kkaadi okuvuganya ku bifo eby’enjawulo, ye abadde munna DP eyasaze eddiiro okwegatta ku […]
Effujjo lino likulembeddwa akulira ebikwekweto ku poliisi e Mukono, ASP Juma Sabira, ng’ono abadde akolera wamu n’abasirikale be ssaako abavubuka ba kifeesi wadde ng’ate bbo abasirikale b’amagye wadde babaddewo, babadde batunula butunuzi. Busoga Christians Reject Clergy Fronted for Bishop’s Seat, Petition Archbishop Okulonda kw’abavubuka mu munisipaali y’e Mukono kubaddemu effujjo eritagambika banna NRM bwe bakoze […]
Ye Muyanja ategeezezza nti okumujja ku kifo ky’obubaka bwa palamenti okudda ku ky’obwa ssentebe wa disitulikiti si kumussa ddaala kuba ate ye bw’anaawangula aggya kuba atwala kkonsituwensi zonna ennya eza disitulikiti y’e Mukono. Besigye’s Unlawful Arrest Case Against Kenyan Government Given Hearing Date Eby’obufuzi e Mukono bituuse we binyumira! We twogerera nga buli mbuzi etandise […]
Okusinziira ku by’aliwo ku Lwomukaaga n’ebyo Nambooze bye yayogedde mu ddoboozi eryayise ku WhatApp, abawagizi ba Kiwanuka Sulaiman bawoteevu, tebakyalina ssuubi nti omuntu waabwe ayinza okujja kkaadi e Kavule, wabula eky’okuzzaako, na buli kati kye kikyabeetakuza emitwe. Obunkenke mu nkambi z’abavuganya ku kkaadi ya NUP ku kifo ky’omubaka wa palamenti e Nakifuma buli waggulu! Bano […]
Benard Ssembapa ne Julius Nkangi be bamu ku baddidde Nambooze ne bamufuula emboozi okuyita ku mikutu gi mugatta bantu nga bamuvunaana okubeera emabega w’emivuyo gino. Bangi ku Bannamukono omuli n’abakulembeze mu kibiina kya NUP ababadde basalira omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke omusango, ku ngeri gye bagamba etali nnambulukufu ekibiina gye kyanaabidde mu […]
Amawulire gano tegayinza kuba malungi n’akatono eri omubaka Nambooze, kuba Bakaluba yamulozaako dda era bw’alangirira olutalo gy’ali, ekiba kimwolekedde aba akimanyi bulungi. Abaganda baagera nti, “Lw’oyagaliza muka kitaawo, lutta nnyonko”, sso nga ne bw’oba ogoba musajja munno, embiro olekamu ezinaakuzza. Wabula omubaka Betty Nambooze Bakireke bw’aba y’omu ku baabadde balima Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa […]
