Mu biseera we yabeerera ssentebe wa disitulikiti, Lukooya yali mukulembeze eyali teyeerya ntama nga takkiriza mukozi wa gavumenti anyigiriza muntu wa bulijjo. Pulezidenti Museveni Enkya Lw’akwasa Abakulu B’ebika By’Abaganda Ettaka Lye Yabagulira Eyaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Francis Lukooya Mukoome amezze banne bwe babadde bavuganya mu kamyufu ka NRM ku kifo ky’obwa ssentebe bwa […]
Okuva mu mbeera, kiddiridde okufuna amawulire ng’omuntu waabwe okwevumba akafubo ne ssentebe w’ekibiina mu disitulikiti, Hajji Haruna Ssemakula, amyuka RDC w’e Mukono, Hassan Kasibante n’eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Francis Lukooya Mukoome ng’ono naye avuganya ku kifo kye kimu. Ng’ebula ssaawa busaawa okulonda kw’akamyufu ka NRM ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti mu Uganda […]
Daisy alangiriddwa ku bululu 4,067 n’addirirwa Ssenyonga ku bululu 3,544, Robert Mugabe ku bululu 792 ne Herbert Omoding ku bululu 344. Olwa Peace Kusasira ne Nakavubu Terunnaggwa, Alangiridde Okuddamu Okwambalagana Naye mu ka Bonna Kyaddaaki Dr. Daisy Sarah Ssonko Nabatanzi alangiriddwa ku buwanguzi ku kifo ky’anaakwatira NRM bendera mu kuvuganya ku kifo ky’omubaka wa palamenti […]
“Omuwanguzi alina okukwatira NRM bendera alina okuba nga y’asinga obuwagizi mu bantu sso ssi oyo gwe batembeeta obutembeesi. Abantu bampadde obululu misana ng’ensi eraba, ate abakulu ne bakola olukwesikwesi ng’eggombolola emu tebagibaze ne balangiriramu Nakavubu, ekyo siyinza kukikkiriza,” Kusaasira bwe yategeezezza. Olutalo wakati wa Bannakibiina kya NRM abaavuganyizza ku kifo ky’okukwatira kkaadi ekibiina ku kifo […]
Eyabadde kalabaalaba w’okulonda kuno, nga y’atwala eby’okulonda kwa NRM mu Greater Mukono, Samuel Eyenga, yalagidde okulangirira ebyavudde mu kulonda ku kifo kino okuyimirizibwa. Okulangirira omuwanguzi wakati w’abaavuganyizza mu kamyufu ka NRM okufuna anaakata bendera ya NRM ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono kukyajulidde. Kiddiridde okukwatibwa kw’eyakuliddemu okulonda kwa divozoni y’e Goma Joseph […]
Eyali omubaka wa Nakifuma, Ying. Robert Kafeero Ssekitoleko naye yawangudde kkaadi ku bululu 10,626 n’addirirwa Joseph Mugambe Kif’omusana ku bululu 1,104 ate Jackson John Ntwatwa n’afuna 642. Amaziga mu kulonda kwa NRM e Mukono-poliisi ekubye omu ku bavuganya Ssenyonga bubi nnyo!!! Ebyavudde mu kulonda kwa NRM e Mukono mu kunoonya abanaakwatira ekibiina bendera ku bifo […]
Kigambibwa nti Ssenyonga ne Ssenyonjo okuva ku poliisi baasitudde basitule ne babateeka ku bodaboda ezaabavuze okubatwala ku poliisi e Mukono ng’ebiri ku nsi tebakyabimanyi nga bayitiirira buyiriitizi. Amaziga gayunguse abawagizi b’eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono Andrew Ssenyonga mu kiro ekikeesezza olwa leero oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okukubibwa kwe okuva eri abakuuma ddembe n’asigala nga takyamanyi […]
Nakabaale atutegeezezza nti okulonda kuno kugenda kubeera ku buli kyalo kw’ebyo 610 ebikola disitulikiti y’e Mukono ng’abantu bagenda kulonda abeesimbyewo abaagala okukwatira NRM bendera ku bifo by’ababaka ba palamenti mu kkonsituwensi ez’enjawulo. Ng’ebula ssaawa busaawa okulonda kw’abanaakwata bendera z’ekibiina kya NRM ku bifo eby’enjawulo eby’ababaka ba palamenti kubeerewo olunaku olw’enkya ku Lwokuna nga July 17, […]
Munna NRM agudde ku kyokya ye Marvin Mugisha ng’ono alagiddwa okuyimiriza mbagirawo enteekateeka z’okunoonya obuwagizi okutuusa ng’avuddeyo n’awaayo okwewozaako kwe. Oluvannyuma lw’ebbanga ng’aby’okwerinda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo basomeddwa eky’okuzzaako olwa Bannakibiina kya NRM abasusse okukola ebibinja by’abavubuka abakola effujjo ku bannaabwe nga banoonya obululu, ebyakazibwako eggaali, akulira akakiiko k’eby’okulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi akambuwadde. […]
Dr. Lulume ne banne balondeddwa mu ttabamiruka w’ekibiina atudde okukitongoza olwa leero ku Lwokubiri nga July 8, 2025 ku kitebe kyakyo ku Katonga Road mu kibuga Kampala. Nga ky’aggye ayabulire ekibiina kya DP yeesogge ekibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) ekyatandikibwa Dr. Kizza Besigye ku Mmande, omubaka wa palamenti owa Buikwe South, Dr. Micheal […]