Bya Tonny Evans Ngabo
Disitulikiti y’e Wakiso etandise okukola ku nteekateeka z’okukulaakulanya omwalo gw’e Bugiri ogusangibwa mu ttawuni kkanso y’e Katabi mu kibuga ky’Entebbe.
Abakulu okuva ku disitulikiti we batuukidde okuvaayo ng’ettaka lyabwe kyenkana linaatera okugwawo nga litwalibwa bakyalakimpadde abaatandika edda okwegabirako ppoloti ne beefuniramu emusimbi.
Mother Mary Kevin Kearney: The Story Behind the Total Healing of Leprosy in Uganda
Wadde disitulikiti evuddeyo n’enteekateeka z’okukulaakulanya omwalo guno, ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr Matia Lwanga Bwanika mu nsinsinkano n’abavubi ku mwalo guno abagumizza nti mpaawo muntu yenna agenda kugobwa ku mwalo wabula mu kadde kano disitulikiti etandise kaweefube ow’okuwandiisa abantu bonna abakolera ku mwalo guno.
Ssentebe Bwanika mu ngeri y’emu agamba nti beetaaga palamenti eddemu erambike ku nsonga y’amagye agali ku nnyanja nga abavubi bazzenga bageemulugunyako okubaliisanga akakanja naye tewaanabaawo kikolebwa.
Alfred Malinga akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti beesanze nga ettaka lya disitulikiti eriwezaako yiika nnya libadde terikozesebwa nga wabaddewo n’abantu ababadde batandise okulikozesa mu ngeri emenya amateeka.
Malinga agambye nti mu bbanga eritali lya wala, disitulikiti egenda kusindika ku mwalo guno abapunta basobole okwerula empeda z’ettaka lino olwo bategeere bulungi gye liva ne gye likoma na baani abalyesenzaako era bakolerako ki?
Wabula ate bbo abavubi ku mwalo guno nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe David Kasujja balumiriza abakozi ba disitulikiti okubeera mu kkobaane ery’okumalawo ettaka lya disitulikiti nga bayita mu kuliguzaako abantu ab’enjawulo bu ppuloti nga bano be bagenda balizimbako nga tebagoberera na ppulaani.