Dr. Lulume ne banne balondeddwa mu ttabamiruka w’ekibiina atudde okukitongoza olwa leero ku Lwokubiri nga July 8, 2025 ku kitebe kyakyo ku Katonga Road mu kibuga Kampala.
Nga ky’aggye ayabulire ekibiina kya DP yeesogge ekibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) ekyatandikibwa Dr. Kizza Besigye ku Mmande, omubaka wa palamenti owa Buikwe South, Dr. Micheal Lulume Bayiga agudde mu bintu bw’alondeddwa omumyuka Pulezidenti w’ekibiina kino kye yaakamalamu essaawa obusaawa.
Dr. Lulume y’amyuka Loodi Mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago, ng’ono y’alondeddwa okubeera Pulezidenti ow’ekiseera ow’ekibiina kino ku kisanja kya myaka ebiri.
Ate ye omubaka wa Kira Municipality, Ibrahim Ssemujju Nganda alondeddwa nga Ssaabawandiisi w’ekibiina.

Good Samaritan Sisters Lose Over 200 Acres of Land to Grabbers
Dr. Lulume ne banne balondeddwa mu ttabamiruka w’ekibiina atudde okukitongoza olwa leero ku Lwokubiri nga July 8, 2025 ku kitebe kyakyo ku Katonga Road mu kibuga Kampala.
Dr. Kizza Besigye omutandisi w’ekibiina kino ali mu kkomera e Luzira gy’avunaanibwa emisango egy’enjawulo okuli n’egy’okulya mu nsi olukwe n’okwenyigira mu nkwe ez’okumaamulako gavumenti eri mu buyinza.

Former DP Presidential Aspirant Dr. Lulume Spits Fire After Defecting to PFF