Dr. Tanga Odoi

Effujjo mu Kampeyini za NRM: Tanga Odoi Ayimirizza Omu ku Bavuganya Ku Ky’obubaka Bwa Palamenti

1 minute, 28 seconds Read

Munna NRM agudde ku kyokya ye Marvin Mugisha ng’ono alagiddwa okuyimiriza mbagirawo enteekateeka z’okunoonya obuwagizi okutuusa ng’avuddeyo n’awaayo okwewozaako kwe.

Oluvannyuma lw’ebbanga ng’aby’okwerinda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo basomeddwa eky’okuzzaako olwa Bannakibiina kya NRM abasusse okukola ebibinja by’abavubuka abakola effujjo ku bannaabwe nga banoonya obululu, ebyakazibwako eggaali, akulira akakiiko k’eby’okulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi akambuwadde.

Tanga Odoi ayimirizza om uku beegwanyiza ekifo ky’obubaka bwa palamenti ekya Katikamu South obutaddamu kukola kkampeyini ng’entabwe eva kw’ono okwemulunyizibwako ng’omu ku basusse okubeera n’eggaali y’abavubuka etuusa obulabe ku bawagizi ba banne bwe bavuganya.

Munna NRM agudde ku kyokya ye Marvin Mugisha ng’ono alagiddwa okuyimiriza mbagirawo enteekateeka z’okunoonya obuwagizi okutuusa ng’avuddeyo n’awaayo okwewozaako kwe.

Mother Arrested, Charged for Trying to Get $400 From Man to Let Him Defile Her 7-Month-Old Daughter

Bino bituukiddwako nga Mugisha taliiwo era asuubirwa okuvaayo okunnyonnyola ku bimwogerwako olwo akakiiko kasalawo ku kiki ekiddako.

Dr. Tanga Odoi w’aviiriddeyo ng’effujjo lisusse okweyolekera mu nkambi z’abavuganya ku bifo eby’enjawulo mu NRM ng’okulwanagana kuzze kulabibwako mu bifo eby’enjawulo n’abantu ne batuuka okufiiramu ssaako abalumiziddwa n’okwonoona ebintu.

Mu kkonsituwensi y’e Lwemiyaga, waliwo omuwagizi w’omu ku bavuganya, Theodore Ssekikubo eyakubibwa amasasi n’afa gye buvuddeko. Ono yakubibwa amasasi ab’amagye ga UPDF ye Ssekikubo b’alumiriza nti baasindikibwa munne bwe bavuganya, Gen. Emmanuel Rwashande.

Mu kkonsituensi y’e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende, abawagizi b’omubaka wa palamenti aliko, David Kabanda baagwangnaye mu Malaka n’aba kkampu endala, okukkakkana ng’omuntu omu akubiddwa amasasi n’alumirizibwa n’okwonoona ebintu ebiwerako omuli n’okwokya emmotoka.

Tanga Odoi n’akakiiko ke era baasisikanye ne bannakibiina okuva mu disitulikiti y’e Manafwa ne babaako bye batuukako.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!