Minisita Serwanga, ab'eby'okwerinda e Buvuma n'abakulembera omupiira mu ttiimu y'essaza ly'e Buvuma.

Effujjo mu Mipiira Gy’amasaza! Buvuma ne Bugerere Gabonerezeddwa!!!

1 minute, 30 seconds Read

Amasaza gombi, Buvuma ne Bugerere gaaweereddwa ekibonerezo okuva mu maka gaago gagende ku bugenyi gye gaba gakyaliza emipiira gyago egiddako.

24yr-Old Medic Kills 45yr-Old Pregnant Girlfriend For Refusing to Abort

Oluvannyuma lw’okulwagana wakati w’abawagizi okuli ab’essaza ly’e Buvuma n’e Bugerere mu mupiira gwe baasamba Ssabbiiti ewedde, olukiiko olufuga empaka z’amasaza luvuddeyo ne lubonereza amasaza gombi.

Awagizi okuva mu mbeera kyava ku mupiira Buvuma gwe yali esamba ne Bugerere ku kisaawe e Maggyo ku Lwomukaaga nga May 9, 2025 okugwa amaliri ku ggoolo emu kw’emu olwo emiggo ne givaayo.

Abawagizi balabibwa ku butambi obutambula ku mikutu gi mugatta bantu nga beekuba ekyaviirako eb’eby’okwerinda okubiyingiramu.

Omu ku bakulembeze mu ttiimu y’essaza ly’e Buvuma ng’annyonnyola Minisita Serwanga ebyaliwo.

Embeera eno yawalirizza ne Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Robert Serwanga okubiteekamu engatto n’agenda e Buvuma okusisinkana abakulembeze baayo, abaddukanya omupiira mu Ssaza lino wamu n’ab’eby’okwerinda okumanya embeera eyaliwo ku lunaku olwo.

Minisita Serwanga oluvannyuma mu woofiisi ye mu Bulange e Mmengo, yasisinkanye abakulembeze okuva mu Ssaza ly’e Bugerere abakulembeddwamu Mugerere Samuel Ssemugooma, Omumyuka we n’abamu ku bakulira omupiira mu Ssaza lino ne boogera ku mbeera eyaliyo n’engeri ensonga zonna bwezinaagonjolwa.

Mugerere Samuel Ssemugooma (ku kkono ng’asise Mbuubi Micheal Mbowa mu mukono, wakati ye Minisita Serwanga.

Amasaza gombi, Buvuma ne Bugerere gaaweereddwa ekibonerezo okuva mu maka gaago gagende ku bugenyi gye gaba gakyaliza emipiira gyago egiddako.

Essaza ly’e Buvuma ligenda kikyaza Bulemeezi ku kisaawe ky’essaza ly’e Kyaggwe ku Bishop S.S ku Lwomukaaga sso ng’ate Bugerere yakukyaza Kyaddondo ku kisaawe kye kimu ku Ssande. Emipiira gino gyakusambibwa ku ssaawa Kkumi.

Minisita Serwanga n’abakulembeze ba ttiimu y’e Bugerere nga bakulembeddwa Mugerere.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!