Jjajja ku mwalo e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono asula atunula ng’entabwe eva ku muzzukuluwe omuwala ow’emyaka 11 eyabuze ewaka.
Florence Nagadya (57) agamba nti takyakomba ku mpeke ya tulo okuva muzzukuluwe Birungi Nakidde lwe yabula n’ava ewaka.
Nagadya agamba nti baggulawo omusango ku poliisi e Katosi ku ffayiro nnamba SD 19/09/11/2023 ssaako okubuna ebyalo n’okusamba ensiko nga banoonya omuzzukulu naye okuva mu November omwaka oguwedde ne gye buli eno tebamuwulizanganko.
Agattako nti baawuliziganya ne kitaawe wa Nakidde, Robert Ssenabulya akola ogw’obuvubi mu bizinga e Koome mu disitulikiti y’e Mukono naye nga nayo tatuukangayo.
Jjajja agamba nti muzzukuluwe Nakidde yandiba nga yabuzibwawo abantu abatannategeerekeka ng’oba oly’awo baamutwala kukola obwa yaaya mu kibuga oba nga gassedduvutto gaamwebagajja ne gamutwala okumuzza mu nsonga z’ekifumbo.
Ono yeekubidde enduulu eri oyo yenna ayinza okuba nga yalaba ku mwana ono okumuyamba amutegeeze ku mayitire ge kuba omutima gususse okumuluma. Oyo yenna amanyi amayitire g’omwana ono, osabibwa okukukuba ku nnamba okuli; 0744836368 oba 0742489291.